Poliisi ekutte abafumbo abagambibwa okutulugunya omwana aliko obulemu n'afa
Nov 13, 2024
Poliisi y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte n’eggalira abafumbo olw'okukkakkana ku mwana waabwe aliko Obulemu ne bamutulugunya
Poliisi ekutte abafumbo abagambibwa okutulugunya omwana aliko obulemu n'afa
Poliisi y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte n’eggalira abafumbo olw'okukkakkana ku mwana waabwe aliko Obulemu ne bamutulugunya okutuusa bwe yafuddde era nga kino kiggye abatuuze mu mbeera ababadde baagala okubagajambula kyokka poliisi n’ebataasa.
Kasangati Nakakande Eyafudde Era Nakwasa Bazadde (1)
Omugenzi ye Esther Nakakande 20, nga bazadde be okuli kitaawe Eremia Kibirige 50, saako ne maama we omuto ayitibwa Justine Zalwango 40 abatuuze ku kyalo Mayirye mu muluka gw’e Gguluddene mu diviizoni y’e be baakwatiddwa.
Okubakwata kyaddiridde abatuuze okubeemulugunyaako nga bwe basusse okutulugunya omwana waabwe aliko obulemu ekyamuviiriddeko okufa.
Abatuuze ku kitundu kino nga bakulembeddwa Kyalukundo Olivia bavumiridde eky’abakazi abagufudde omugano okutulunya Abaana ne basaba etteeka likole.
Kisule Ben nga ye kkansala akiikirira omuluka gw’e Gguluddene ku diviizoni y’e Busukuma agambye nti ensonga y’okutulunya omwana ono baajifunako kyokka nabo ne bajongerayo mu babasingako obuyinza.
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kw'abafumbo bano kyokka n’alabula abatulugunya abaana abaliko obulemu okukikomya.