Amawulire

OLUKIIKO lw'ekika ky'endiga Oluggya lukubye ebirayiro okutandika emirimu mu butongole

LUKIIKO lw'ekika ky'endiga Oluggya lukubye ebirayiro okutandika emirimu mu butongole

Omutaka lwomwa ku kkono ng'awayaamu n'owakika ky'Endiga
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OLUKIIKO lw'ekika ky'endiga Oluggya lukubye ebirayiro okutandika emirimu mu butongole. 

Lulayiziddwa mu maaso g'Omukulu w'ekika kino, Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi ku ofiisi y'ekika kino esangibwa e Mmengo okuliraana ennyanja ya Kabaka wano mu Kampala. 

Omutaka Lwomwa Lwasi bwabadde ayogera eri abazzukkulu asabye abalayiziddwa okutuukiriza n'okuteeka mu nkola ebyo byebalayidde okukuumira ekika kino waggulu mu nkulakulana. 

Lwomwa ng'akwasa abaweereddwa obuvunanyizibwa ebiwandiiko

Lwomwa ng'akwasa abaweereddwa obuvunanyizibwa ebiwandiiko

Katikkiro w'ekika kino Omuggya nga ye Christopher Kalyesubula ategeezzeezza nga webatuukidde oliwa Leero nga bamalirizza enteekateeka 
mwebagenda okuyita okutuukirizza emirimu egibatumiddwa omukulu w'ekika era naasaba abazzukkulu okubeera obulindaala okutambula n'Olukiiko luno. 

Abalala ku Lukiiko luno ye Mumyuka wa Katikkiro Paulo Kiyingi Luwombo, Omukubiriza ye John Ssebwato, Omumyuka w'Omukubiriza ye  Kasakya Lutalo, Omuwandiisi ye Robert  Nviiri ng'Omumyuka we ye Charles  Sserunkuuma.

Omuwanika  ye Bbosa Mwesigwa,
Entambula, Wofiisi ya Lwomwa, okulabirira abagenyi (Protocol) ye Hajj Yusuf Kabaale, Ebyettaka n'obugagga bw'Ekika ye Tony Blasio Kaweesa, Ow'enteekateeka, enkulaakulana ne emirimu ye Stephen Kiyingi, Ebyenjigiriza ye Badru Kiyingi, Ebyobulimi, obulunzi n'obutonde bw'ensi ye Baker Lutalo.

Lwomwa ng'akwasa abaaweereddwa obuvunanyizibwa ebiwandiiko

Lwomwa ng'akwasa abaaweereddwa obuvunanyizibwa ebiwandiiko

Ow'okunoonyereza ne tekinologiya ye Dr. Musa Kkulumba, Ow'abavubuka ye Nasif Kkulumba ,  Ekikula ky'abantu n'Abakyala ye Justine Namitala, Ebyamawulire n'empuliziganya ye Lydia  Nnakiguli, OwEbyamateeka ye Nulia Nnabbosa, Ebyobulamu n'endabirira y'abantu ye Kenny  Nnakabaale, Okukunga abazzukulu ye Hajarah Nnakiyingi, Ebyokwerinda ye Enoch  Kalyesubula.

Omumyuka w'Okunoonyereza ne Tekinologiya - Farouk Ndagga,  Omumyuka w'ebyemizannyo ye Prossy  Nnalunkuuma,  Omumyuka w'Ebyabavubuka ye Racheal Nnaluggya,  Omumyuka w'Ebyokwerinda ye Moses Lumu, ate Omukuumi w'ebiseera ye Patrick  Kibuuka. 

Tags: