Amawulire

‘Mujje tulwanyise abaana abafuna embuto nga basoma

Naamala omukozi ku Bukedde TV asabye abantu ssekinnoomu n'amakampuni okumwegattako mu lutalo lw’okukendeeza ekizibu ky'abaana abafuna embuto nga bakyasoma.

Dorah Naamala (owookubbiri ku kkono) ng’ali mu lukuhhaana lwa bannamawulire n’abavujjirizi b’enteekateeka eno.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Naamala omukozi ku Bukedde TV asabye abantu ssekinnoomu n'amakampuni okumwegattako mu lutalo lw’okukendeeza ekizibu ky'abaana abafuna embuto nga bakyasoma.
Ng'ayita mu The Naamala Women Empowerment Charity, agamba alabye okusoomoozebwa kungi abawala kwe bayitamu nga bamaze okuzaala kuba ebiseera ebisinga abasajja ababazaalamu tebabalabirira.
Ku Mmande, Naamala, ttiimu ye n’abavujjirizi baatuuzizza olukuhhaana lwa bannamawulire ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area, Kampala ne banjula enteekateeka gye balina mu sizoni eyookubiri.
Sizoni eyasooka omwaka oguwedde, baatandikira Namutumba mu Busoga ne bagamba nti ne ku luno gye bagenda okusigala nga baakubeera e Buyende.
Naamala agamba nti, basazeewo okuddayo mu kitundu ekyo kuba baasanga embeera yaayo mbi ddala.
N’agamba nti enteekateeka eno yaakutalaaga ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo ng’essira baakuliteeka ku kusomesa abawala abo, babeeko kye bayiga kye basobola okukola okuggyamu ensimbi okwebeezaawo.
Naamala agamba nti, era bagenda kuwa abawala abo ebintu ebikozesebwa awaka omuli; engoye, ssukaali, ssabbuuni n'ebirala.
Richard Kansiime kitunzi wa Uzima Mineral water, yeebazizza Naamala olw’okubeera n’omutima omulungi ogulowooza ku bayita mu kusoomoozebwa n’agamba nti, baakwongera okumuwagira.
Ate Denis Kirangana owa Chapa General Enterprises Limited yagambye nti, kkampuni yaabwe yeenyumiririza mu ky'okuzzaamu abantu essuubi naddala abo abayita mu kusoomoozebwa.
Elizabeth Lutwama Nalunkuuma dayirekita wa St.Eriza Foundation Njeru, asabye abazadde okubawa abaana babasomese era n’akakasa nti baakubaayo e Buyende okuwa obujjanjabi obw’obwereere.
Bya

Tags: