ABANTU abasoba mu 70 abagambibwa okutulugunya abasuubuzi n'abatuuze nga beeyambisa ebiso okubabba, bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Wakiso ne Mukono.
Ekikwekweto ekisooka, kikoleddwa mu zzooni ya Kikajjo e Namasuba mu Makindye Ssaabagabo munisipaali mwe bayooledde 13 era ne babaggalira.
Ku bano, Nathan Waniale ne Emma Mugobera kigambibwa nti babasanze n'ejjambiya ssatu empya, nga kirowoozebwa okuba nga babadde bazeeyambisa okutulugunya n'okubba abatuuze.
E Mukono Central zzooni , Namumira, Ngandu, Bajjo, Ntinda , Nyenje , Seeta , e Ggoma ne Kakiri, ekikwekweto kiyodde 52.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bakyayigga abalala, mu kulwanyisa, obumenyi bw'amateeka.