ABANTU 17 abagambibwa okwenyigira mu kukoppa n'okubbira abayizi ebigezo by'ekibiina eky'omusanvu, bakwatiddwa poliisi e Masaka.
Ku ssomero lya St. Kizito Butenzi P/S e Masaka, abasomesa 8 bakwatiddwa n'ebigambibwa okuba ebizibiti , bwe babasanze bawandiikira abayizi ebigezo ku mbaawo.
Abakwatiddwa kuliko Jackson Ngobya, Ashiraf Kavuma, Misaaki Jjuuko, Ronald Kyusa , Micheal Sempijja , Isma Mubiru, Adam Turyasungula, ne Asharif Waiswa.
E Rakai , Nuuwa Katende akwatiddwa nga yeyita UNEB Scout ate nga yo e Kyotora, abakuuma ebigezo 6 okuva mu UNEB nabo bakwatiddwa ku bigambibwa nti beenyigidde mu kubbira abayizi ebigezo.
Abakwatiddwa , kuliko Harriet Nakityo, John Lubega , Sulait Mulindwa, Annet Nassamula, Sylivia Nassango , ne Gonzaga Ssekitooleko.
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, ategeezezza nti okubakwata, kyaddiridde okusanga omuyizi n'akapapula okwabadde answer akamuweereddwa abantu bano.