Amawulire

Ebya P7 bya wiiki ejja - Enteekateeka zonna ziwedde!

Waliwo omwana atawena eyabuzaawo Kitaawe nga muzibe nga wa myaka 90   n’oluvannyuma n’atunda enju mw'abadde abeera ne bagikoona ku ttaka

Ebya P7 bya wiiki ejja - Enteekateeka zonna ziwedde!
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations board ( UNEB) kirangiridde ng’abayizi 817,930 bwe bagenda okutuula ebigezo eby’akamalirizo ebya PLE.

 

Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule Musamba yagambye nti enteekateeka z’okukola ebigezo eza PLE ziwedde.

 

Abayizi abawera 389,557 balenzi ate  428,373 bawala era nga enteekateeka y’okutuula ebigezo bino etandika ku Lwokutaano nga October 31, 2025 n’okubuulirira abayizi ( Briefing).

 

“Twagala okutegeeza eggwanga nti enteekateeka z’okukola ebigezo bya PLE ziwedde era nga tulinze lunaku olwalangirirwa bitandike. Omuwendo gwe twawandiisa okugenda okukola ebigezo bino gwafulumizidwa era tusaba abayizi beeteketeeke” Kalule bwe yategeezezza.

 

Yagambye nti UNEB yasoose n’ebangula abagenda okulondoola okukola ebigezo ku mutendera gwa disitulikiti 150 nga bano be bagenda okubangula abasomesa n’abaserikale abagenda okukuuma ebigezo mu masomero.

 

Yategezezza nti abakulira amasomero balina omulimu omunene n’obuvunaanyizibwa okubuulirira abayinzi ku bye balina okukola n’okubateekateeka obulungi okusobola okwewala ebiyinza okubaviirako okusazaamu ebigezo byabwe.

 

Yagambye nti ebigezo bya PLE byakutuulibwa ku Mmande nga November 3, 2025 ng’abayizi baakusooka n’okubala ( Mathematics) olwo babimalirize enkeera nga November 4.

Tags:
Nju
Kyapa
Mannya
Maaso
Kukyusa
Muwala