Mu kaawefube w'okussa mu nkola ebiragiro bya minisitule y'ebyenjigiriza okuyimiriza abayizi okulambula, poliisi eriko bbaasi 18 ze yakutte nga zitambuza abayizi okubatwala okulambula.
Baasi zino, baazikwatidde mu kikwekweto ekyakoleddwa ku lutindo e Jinja era ne zikuumirwa mu kifo ekyo n'abayizi okutuusa enkeera , olwo ne baziwa abaserikale abaziwerekeddeko okutuuka ku masomero gya baabadde bavudde.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ebikwekweto bino bigenda mu maaso era n'alabula abazadde obutakkiriza masomero kulimba nti batwala abaana okulambula, kuba minisitule yakuyimirizza.