Amawulire

Agambibwa okwambala jaketi eyeefaanaanyiriza ey'ekijaasi n'afulumya vidiyo esiga obukyayi akwatiddwa poliisi

Ivan Musana 20, gwe bakwatidde e Bukedea n'atwalibwa ku poliisi e Kawempe mu Kampala, gy'akuumirwa ku misango gy'okusaasaanya ebigambo ebisiga obukyayi n'okukozesa obubi kkompyuta.

Agambibwa okwambala jaketi eyeefaanaanyiriza ey'ekijaasi n'afulumya vidiyo esiga obukyayi akwatiddwa poliisi
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUVUBUKA agambibwa okwambala jaketi eyeefaanaanyiriza ey'ekijaasi n'afulumya vidiyo esiga obukyayi, akwatiddwa poliisi.

Ivan Musana 20, gwe bakwatidde e Bukedea n'atwalibwa ku poliisi e Kawempe mu Kampala, gy'akuumirwa ku misango gy'okusaasaanya ebigambo ebisiga obukyayi n'okukozesa obubi kkompyuta.

Kitegeezeddwa nti Musana, yasaasaanya akatambi ku mikutu egy'enjawulo okuli n'ogwa Tiktok , nga kalimu ebigambo ebirumira era okuva olwo, ebitongole by'okwerinda, bibadde bimuyigga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti ono si mujaasi wa UPDF era alabudde abantu okubeera abeegendereza ennyo, naddala mu kiseera kino, nga tugenda mu kulonda.

Tags:
Jaketi
Poliisi
Muvubuka
Kusiga
Bukyayi
Kufulumya
Vidiyo