Poliisi e Mubende ekutte abantu babiri abagambibwa okwekobaana ne batta munnaabwe ow'emyaka 19.
Kigambibwa nti omulambo bagulese ku lubalaza lw'eddwaaliro ne babulawo kyokka poliisi oluvannyuma n'ekwatako babiri.
Attidwa, ye Davis Namara 19 omutuuze Bulaaza mu muluka gw'e Nkandwa mu Ggombolola y'e Kayebe e Mubende, bwe bafunidde obutakaanya mu bbaala, ne bamukuba eccupa ya bbiya ku mutwe, emuviiriddeko okufa.
Omugenzi, yagenze mu bbaala ya Prossy Namata ne banne okuli Deogracious Twinomukama amanyiddwa nga Kanini 60, Deus Akankwasa 37 ne Nkamuhabwa okunywamu nti ne bafuna obutakaanya ne bamukuba eccupa ku mutwe.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi, agambye nti bamututte mu kalwaliro ka Scovia Nakakaawa gye bakabatemedde nti afudde, omulambo ne bagusuula ku lubalaza ne babulawo.
Abakwatiddwa kuliko Twinomukama ne Akankwasa nga bali mu kuyigga Nkamuhabwa agambibwa okumukuba eccupa.