POLIISI ezzizza omuvubuka Eric Mukisa amanyiddwa nga Musota mu kifo we yakubira Tomson Mugisha omugere ne bamunyagulula.
Ku Mmande, Musota ne banne abaakwatiddwa poliisi baakulembedde abeebyokwerinda ne babatwala ku luguudo lwa Ben Kiwanuka mu Kampala we baakolera obulumbaganyi buno. Yatwaliddwa ne banne okuli; Yusuf Imam amanyiddwa nga Mutanzania ne Ashiraf Kagaba amanyiddwa nga Musoga.
Mukisa yalaze abaserikale engeri gye baalondoola Mugisha n’amuva emabega n’amusamba ku mutwe n’agwa wansi, munne n’amuggyako ensawo ate ye n’amukwata mu nsawo ne mu mpale n’aggyamu ebintu bye yalina ne bamuleka ng’alambadde.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti okunoonyereza mu musango guno kuwedde nga bagenda kutwala ffayiro ew’omuwaabi wa gavumenti awabule ku kiddako.
POLIISI BY’EZUDDE
Omwogezi mu poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okunoonyereza poliisi kw’ekoze ekizudde nti abavubuka abeenyigira mu kusamba n’okubba abantu abasinga tebalina byakukola okufuna omutima ogw’okubba kwe kulaba firimu omuli eziyigiriza okubba. Ekirala abavubuka bano bagenda mu jjiimu gye batendekera ebikonde n’ensambaggere.
Yategeezezza nti era waliwo abeesanga mu makomera gye bakwataganira nga bwe bayimbulwa baddamu okukwatagana ne bakola obubinja mwe basinziira okulondoola n’okukuba abantu ne babanyaga.
Yagambye nti abantu abasinga okukolebwako obulumbaganyi basooka kubalondoola naddala abo abava mu bbanka ne ATM okuggyayo ssente ne mobile money .
BAMENYE EKIFO MU KISENYI
Abakulembeze mu Kisenyi baamenye enfo ezigambibwa okubeeramu abamenyi b’amateeka ne bakwatiramu omuvubuka abadde ayiggibwa ku gw’okubba Laptop ayitibwa Alex Mafaabi. Baamukunguzza n’abatwala ku luguudo lwa Namirembe road gye yagitunda, wabula gwe yagiguza teyabaddewo ne bamuzzaayo ku ofiisi za LC etwala Muzaana zooni mu Kisenyi etwala ekifo kino ekisaanyiziddwaawo.
Atwala ebyokwerinda mu Kisenyi, Ssaalongo Ibra Kato eyakulidde ebikwekweto yategeezezza nti ekifo ekisoose okuggalwa kye kibadde kisigadde wakati mu Muzaana zooni nga kibadde kikung’aanya ebibinja by’abavubuka