Palamenti eyise Minisita Jeje Odong annyonnyole ku by'abakungu ba Gav't 71 abaagenda mu lutuula lwa UN

AMYUKA Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Gen. Jeje Odong okujja annyonnyole palamenti ku nsonga ezikyalemedde mu mawulire okutuusa kati ku bigambibwa nti baatuma abantu 71 okugenda okukiikirira Uganda mu lukiiko lw’amawanga amagatte gye buvuddeko.

Palamenti eyise Minisita Jeje Odong annyonnyole ku by'abakungu ba Gav't 71 abaagenda mu lutuula lwa UN
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#UN #Palamenti #Jeje Odong #Thomas Tayebwa

AMYUKA Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Gen. Jeje Odong okujja annyonnyole palamenti ku nsonga ezikyalemedde mu mawulire okutuusa kati ku bigambibwa nti baatuma abantu 71 okugenda okukiikirira Uganda mu lukiiko lw’amawanga amagatte gye buvuddeko.

Kati zikunukkiriza wiiki bbiri ng'ensonga z’okuba nti abakungu ba gavumenti 71 abaali bakulembeddwamu omumyuka wa Pulezidenti Jessica Alupo wamu ne katikkiro wa Uganda Robina Nabbanja ziremedde mu mawulire.

Wiiki ewedde akabondo ka NRM bwe kaasisinkana omukulembeze w’eggwanga mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe, Nabbanja wamu ne Alupo baasabibwa okuttaanya ku nsonga zino wabula nga ebyavaayo biraga nti baagenda abantu 10 bokka.

Mu lutuula lwa palamenti olwatudde eggulo, omubaka wa Kyadondo East Nkunyinji Muwada yatageezezza nga minisita Odong bwe yeetaaga okujja abannyonnyole ekituufu kyeki nga ye avunanyizibwa ku kusindika abantu okukiikirira Uganda.

Olutuula Lwa Palamenti

Olutuula Lwa Palamenti

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga ku nsonga eno asabye sipiika okuyita ne Katikkiro wa Uganda okujja ategeeze palamenti ku nsonga y'emu kubanga bbo bamulaba mu mawulire ng'ate ageeyambisiza okulaga nti waliwo abamulwanyisa.

Wabula amyuka sipiika Tayebwa agambye nti eky’omuntu okwewozaako ku nsonga yonna mu mawulire oba mu bantu kikkirizibwa kasita abeera nga tavumye ekiyinza omuleetera okuyitibwa mu kakiiko k’empisa.

Agambye nti ekya Nabbanja okwewozaako mu lujjudde kiri mu mateeka ng'ensonga zino alina okujja azoogerako ye minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga.

Bw'atyo alagidde minisita Odong okujja annyonnyole ekituufu kubanga ebiyiting'ana mu mawulire ate byongera kubuuzabuza bantu.