OMUWABUZI wa Pulezidenti mu nsonga ez’enjawulo, Phiona Barungi akunyizza akulira ekisaawe ky’e Namboole, Jamil Ssewanyana olw’ebigambibwa nti, yeekobaana
n’eyali Meeya wa Kira, Mamerito Mugerwa okutwala ettaka ku batuuze mu lukujjukujju nga beerimbise mu kuliyita ery’ekisaawe .
Barungi era yakunyiza Ssewanyana ku bigambibwa nti, abadde akozesa amannya g’abanene mu Gavumenti n’okusingira ddala Muka Pulezidenti, Muky. Janet Museveni okuwamba ettaka ku batuuze mu kitundu kino nga batiisibwa okutuusibwako obulabe.
“Lwaki mwonoona amannya g’abantu. Okakasa Maama y’akutuma okugoba abantu kun ttaka lyabwe, mmwe muvumaganya Gavumenti nga mwerimbika mu ffamire y’omukulembeze w’eggwanga okutulugunya abantu. Njagala olage engeri gyen wafunamu ettaka lino era ebyaliwo byonna obivunaanyizibwako butereevu,”n Barungi bwe yagambye. Kiddiridde abatuuze abasoba 300 mu kitundu kya Katooke mu Kireka B mu munisipaali ya Kira, Wakiso abaakulembeddwamu nnannyini kibanja okuli enkaayana Godfrey Kawooya, okulombojjera Barungi ku ngeri gye baayisibwamu nga
basendebwa ku ttaka lyabwe omwali okufiirizibwa ebintu byabwe byonna nga tebalina kye baggyamu gattako okufiirwa abantu baabwe basatu. Kawooya yagambye nti, ekibanja kino ekiweza yiika 11, kiri ku bulooka 234 poloti 1537 nga kyali kya kitaawe omugenzi Joseph Kibirige.
Yagambye nti, Sewanyanam yakozesa omukisa gw’okuddaabiriza ekisaawe emyaka ebiri emabega n’abasenda ng’agamba nti, bali ku ttaka lya kisaawe.
Yayongeddeko nti, balaba Sewanyana abali bubi, kwe kuyita Mamerito Mugerwa ayingire mu nsonga bafune obwenkanya, kyokka n’abeefuulira.
“Sewanyana yakozesa abajaasi ne poliisi abaali bakuuma ekisaawe gattako bakifeesi ne beegatta ne bakuba abatuuze ne babagoba ku ttaka. Baakoona amayumba gaabwe ne bagayiwa ku ttaka era mu kavuvungano abantu baabwe baafa. Banzigulako emisango gy’ettaka ne bansiba okumala emyaka ena ne mpoza nga ndi mu kkomera ne mbawangula kubanga tebaalina biwandiiko.
Bwe nnakomawo ku ttaka ate baakozesa amaanyi mangi ne batumenya ebintu byange byonna ne babyonoona”, Kawooya bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, bwe baagobwa ku ttaka lino Sewanyana yayongerako buggwe ataaliko pulaani okututangira okulinnyayo ne bafunirako n’ebyapa kyokka nga bisoma
bbulooka awatudde ekisaawe.
Yagambye nti, baagezezaako okwekubira enduulu mu bitongole bya Gavumenti eby’enjawulo okufuna obwenkanya kyokka bwe baategeera abakirimu, batwesamba nga
babatiisa nti, kya Maama Janat.
Nnannyini ttaka lino Omulangira Ssimbwa Kiweewa yategeezezza nti, kibanja kino kyali kya Kawooya abaddenga akikolerako ng’asasula bulungi obusulu. Yayongeddeko
nti, naye yaddukira mu kkooti n’awawaabira Sewanyana ne banne okufuna ebyapa ku ttaka lye nga bateekako aba China abakubirako bbulooka abalala ne bazimbako essundirob ly’amafuta.
Sewanyana yategeezeza nti, ettaka lya Gavumenti era abantu abaali ku ttaka we baasenda e Namboole bonna baaliyirirwa. Yeesammudde eby’okukulemberamu abajaasi
okutulugunya abantu n’agamba nti, kyakolebwa mujaasi Lt. Col. Kiddimuka.
Wabula Rtd. Maj. Gen. Mukasa yeewoozezzaako nti, ettaka yaligula ku baali bakubirawo bbulooka n’agenda ng’aziba ebinnya ebyalimu kyokka nti, mwetegefu okuliddiza nnannyini lyo avaayo nga mulambulukufu. Yayongeddeko nti, mu kikwekweto ekyo abantu baakola effujjo ne babba emmundu ekyavaako munnaabwe
okuttibwa. Wabula Mamerito n’omusumba Mubiru tebaalabiseeko mu lukiiko
luno. Barungi yagambye nti, agenda kukolagana n’ebitongole eby’enjawulo okulaba nga banoonyereza ku ttaka lino bannannyini lyo basobole okufuna obwenkanya.