POLIISI y’e Kisoro, ebuuliriza ku muvuzi wa boda asangiddwa ng'afiiridde mu bbaala mu Kamonyi ward mu kibuga Kisoro gye yabadde agenze okwewaamu.
Jonas Habiyaremye ng'abadde mutuuze w'e Chanika e Kisoro, yafiiridde mu bbaala mw'abadde asuze ne banne okuli Spencer Erinatwe 21 ne Mable Irankunda 23 kyokka enkeera ne basanga mulambo.
Kigambibwa nti ono, yagenze mu bbaala eyo nti n'anywa ne banne n'atamiira n'alemwa okudda awaka, kwe kumuleka ne beebaka ku mukeeka ne banne ekiro, enkeera ne basanga mulambo.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti bakutte abo ababiri, bwe baabadde basuze, bayambeko mu kubuuliriza.