PULEZIDENTI wa Ukraine ateze Trump akalippo atabuke ne Putin ekibalo ky’olutalo lw’eggwanga lye kiveeyo nga bwe yakibala.
Pulezidenti wa America, Donald Trump yayogedde n’owa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy ku Lwokusatu ku by’okukomya olutalo ne Russia n’aleeta ekipya ekiyinza okulutabulira ddala oba okulukomya.
Zelenskyy eyabadde ku ssimu ne Trump, yamusabye akkirize America yeddize ekkolero ly’amasannyalaze ga nukiriya erya Zaporizhzhia.
Ekkolero Lya Nukiriya Erya Zaporizhzhia.
Ayagala yeddize gonna agali mu ggwanga lye kyokka amawulire ga France24 gagamba nti, eryo lye yasoose okwogerako ng’akimanyi era nti, Russia ly’esinga okwagala kuba lyokka lye yeddiza mu lutalo luno ng’amalala ge yasooka okuwamba yava mu bitundu gye gali.
Ekkolero eryo, lye lisinga obunene mu Bulaaya era Putin bwe yali aduumira eggye lye okulumba, ezimu ku nsonga ze yawa, be Bazungu okugenda mu kkolero eryo ne balikoleramu kye yalowooza nti, baali bagezaako kuweesezaamu bbomu za nukiriya.
Putin aliraba nga lya Russia eyalizimba wadde Ukraine yalisigaza mu 1991 bwe yafuna obwetwaze.
Ekiteeso kya Zelenskyy bwe kiyitamu nga Trump bwe yakisanyukidde, kaba kalippo eri Putin. Ssinga America ekkiriza okulyezza, erina okukuubagana ne Russia essaawa eno eriraba ng’eryayo. Putin yalangirira dda nti, olutalo okuggwa, Ukraine erina okukkiriza okufiirwa ebitundu Russia by’egiwambyeko.
Putin (ku Kkono), Trump Ne Zelenskyy
Bino kuliko ebiri mu ssaza fakitole eyo gy’eri, ebirala biri Kherson, Luhansk, Donetsk ne Crimea, Russia kye yawamba mu 2014.
Ng’okwogera kwa Trump n’owa Ukraine kuwedde, omuwabuzi wa America ku byokwerinda Mike Waltz ne minisita w’ensonga z’ebweru Marco Rubio baafulumizza ekiwandiiko ekiraga nti, enteeseganya zaabadde za muggundu.
Zelenskyy bwe yabadde ayogera ne Trump, yabadde mwegendereza obutamunyiiza nga bwe gwali omwezi oguwedde.