Owa Poliisi eyeegasse ku NUP ayogezza banne ebikankana

OMUDUUMIZI wa poliisi mu kitundu kya Elgon, SSP John Bosco Otim avuddeyo ku muserikale munne Afande Rogers Busiku eyalangiridde nti yeegasse ku kibiina kya NUP oluvannyuma lw’okuwummula obwapoliisi. 

Owa Poliisi eyeegasse ku NUP ayogezza banne ebikankana
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#NUP #Poliisi #Muserikale #Binkankana

OMUDUUMIZI wa poliisi mu kitundu kya Elgon, SSP John Bosco Otim avuddeyo ku muserikale munne Afande Rogers Busiku eyalangiridde nti yeegasse ku kibiina kya NUP oluvannyuma lw’okuwummula obwapoliisi. 

RPC Otim yagambye nti Busiku tabeerangako wa poliisi, nga yali ayambako ku nkolagana ya poliisi n’omuntu wa bulijjo era ng’abeera mu bantu. 

Busiku Bwe Yali Ku Yunifoomu

Busiku Bwe Yali Ku Yunifoomu

Yawakanyizza ne by’ayogera nti yakwata emmundu 29 n’agamba nti biboozi kuba talambulula ngeri gye yazikwatamu nga n’ebyokukubwa amasasi tebabirinaako likodi. 

Yagambye nti poliisi erina entegeka ennung'amu ku ngeri gye bajjanjabamu omuserikale ng’afunye obuvune ku mulimu ne yeewuunya n’engeri gye yakubwa guluneedi n’asigala ng’atambula.

 “Tewali ttendekero lya poliisi lyonna gye yali atwaliddwa n’abangulwa. Okuyamba ku poliisi okubangula abantu ku by’amateeka tekikufuula muserikale,” Otim bw’agamba. 

Kyokka Busiku yagambye nti abadde mu poliisi okumala emyaka 26 kyokka bwe yawummudde baamummye akasiimo ke ka bukadde 200. Aba NUP baamuwadde ogufo, nga kati ye ssentebe w’ekibiina mu Mbale era n’akwasibwa ofiisi esangibwa ku Paliisa Road.