OMUKAMBWE wa Iran era omukulembeze ow’oku ntikko Ayatollah Ali Hosseini Khamenei ayungudde emmundu lwasamayinja n’ennyonyi ennwaanyi ezeevuga zokka 1,000 ne zikwasibwa ebibinja by’amagye eby’enjawulo, okwetegekera okulwana akaseera konna singa olutalo lubalukawo ne America.
Omuduumizi w’amagye ga Iran, Maj. Gen. Amir Hatami yagambye nti emmundu zino n’ennyonyi baamaze dda okuzigabanyaamu mu bibinja 4 eby’amagye ga Iran, ate nga zikoleddwa mu tekinologiya ow’ekikugu okusaanyaawo omulabe yenna mu ngeri ey’obukambwe.

Ezimu Ku Nnyonyi Za Iran Ezeevuga Zokka Ezitegekeddwa Okwerinda America.
Eggulo, Ayatollah yakangudde ku ddoboozi n’alabula Trump nti k’agezaako okulumba Iran, yeetegekere okulwana olutalo olw’amawanga gonna agali mu kyondo kya Buwalabu, kubanga bo beetegese okulusaasaanya mu buli nsi America gy’erina amagye n’ebyobugagga.
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa gavumenti ya Iran oguyitibwa Tasnim News Agency, bino Ayatollah yabyogedde eggulo ku Ssande bwe yabadde ku mukolo ogw’okujjukira olunaku Ayatollah gwe yaddira mu bigere Imam Ruhollah Musavi Khomeini lwe yakomawo e Iran okuva mu buwang’anguse.

Trump
Yayongedde n’akiggumiza nti okutiisatiisa Trump kw’akola nti ajja kukuba Iran tekusoose leero, banne be yaddira mu bigere bazze bakyogera naye nga tekuli yeevaamu kukikola kubanga amaanyi ga Iran ne ky’esobola okukola mu lutalo babimanyi bulungi.

Ayatollah
Yagasseeko nti, Trump bw’aba awulira ng’amaanyi gamuwala, agezeeko okukuba Iran ajja kukitegeerera mu maziga aganabeera mu America nga baziika emirambo gy’abajaasi baabwe.
Ye Gen. Hatami yagambye nti okuva Yisirayiri lwe yabalumba mu lutalo olwakulungula ennaku 12, Yisirayiri lw’eyita ‘Operation Rising Lion’, baafuna ekyokuyiga era ne baddayo mu makolero ne bongera okuweesa mizayiro, emmundu ez’amaanyi, amaato amalwanyi, n’ennyonyi ezeevuga nga bakozesa tekinologiya ow’ekika ekya waggulu ennyo, era kati balina ebyuma ebiwerako ate nga bwe bisesebbula bireka mufumbya miyagi.
Yawadde ekyokulabirako nti ennyonyi ennwaanyi ze baakasabuukulula zisobola okukuba buli kye baagala oba kiri mu bbanga, oba ku ttaka, oba ku mazzi, nga kati awulira basobola okukuba buli mulabe yenna aleeta ejjoogo ku Iran.