OMWANA ow'e myaka Omukaaga abadde yawambibwa omukozi w'awaka, azuuliddwa abebyokwerinda okuva e Busukuma mu Nansana Municipality leero.
Poliisi ekyagenda mu maaso n'okuyigga omukozi w'awaka ,ono David Mucunguzi, agambibwa okuwamba omwana ono Mpiirwe Tumwesigye 6 okuva mu maka g'abakadde be Dr. Emmanuel Tumwesigye mu Ddungu zooni e Kawempe .
Omwana ono , yawambibwa nga Dec 12 omwaka guno, era poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe, birudde nga bimunoonya, n'okukwata agambibwa okumuwamba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti , basobodde okugoberera Vidiyo za Tiktok ezizze zikolebwa Mucunguzi, era nga zibayambye okuzuula omwana nga mulamu.
Ayongeddeko nti, bali mu ntegeka y'okuddizza abazadde omwana ono, nga bwe bayigga Mucunguzi.