Amawulire

Omwana eyazaalibwa n’akatulututu ku mubiri avunze omubiri gwonna, maama asobeddwa

MAAMA  ow’abaana ababiri ku kyalo Ssaza ekisangibwa mu Mukono Central division asobeddwa oluvannyuma lwa muwala we ow’emyaka esatu okuzaalibwa n’akatulutuutu ku kigere ssaako n’omukono oluvannyuma n’atandika okuvunda omubiri gwonna.

Lausa Nakanwangi ng'ali mu bulumi.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Eric Yiga

MAAMA  ow’abaana ababiri ku kyalo Ssaza ekisangibwa mu Mukono Central division asobeddwa oluvannyuma lwa muwala we ow’emyaka esatu okuzaalibwa n’akatulutuutu ku kigere ssaako n’omukono oluvannyuma n’atandika okuvunda omubiri gwonna.

Fatumah Nabwire yasobeddwa olwa muwala we Lausa Nakanwangi  okuvunda.

Bano tubasanze mu kazigo mwe basula ng’omwana ono ali mu maziga nga yenna alenya olw’amabwa agajjudde ku mubiri gwe ssaako n’akamwa.

  Nabwire wakati mu maziga ategeezezza ng’oluvanyuma lw’okuzaala muwala we ono ku lunaku olwasookera ddala abasawo baalaba amabwa abiri (2) ku kuggulu ssaako n’omukono era ng’ono baamuwa ekitanda ku ddwaaliro lya Mukono General Hospital gye yamala wiiki bbiri.

Eno oluvannyuma lw’okumulemwa baamusindika mu ddwaaliro ekkulu e Mukono nga balowooza nti kookolo era ng’eno yakulugulayo emyezi ebiri wabula nayo ne bamugoba ne bamusindika mu ddwaaliro e Buluba gye bajjanjjabira ebigenge kyokka nayo navaayo oluvannyuma lw’abasawo okukizuula nti tebyali byo.

Omwana Nga Yenna Ajjudde Amabwa Omubiri Gwonna.

Omwana Nga Yenna Ajjudde Amabwa Omubiri Gwonna.

“ Bwe nazaala omwana ku ddwaaliro lya Mukono General Hospital ono ono yalina obubwa era abasawo bagenda mu maaso okumujjanjaba okumala wiiki bbiri nga tuli ku kitanda, wabula twagenda okulaba ng’omwana  atandise okufuna ebitulututtu eby’enjawulo  wabula nga buli kye batulisa kivaamu omusaayi ne bitandika okubuuna omubiri gwonna, n’okutuusa olwaleero.”

Ono agamba nti mu kiseera kino asobeddwa kuba atunze buli kimu mu nnyumba okusobola okulaba ng’ajjajjaba muwala we byonna bigaanye, kyokka ng’embeera ya muwala we eyongera kwonooneka.

 Alaajanidde Maama Suzan Makula Bujjingo ssaako n’omusumba Alyosius Bujjingo wamu n’abazirakisa okuvaayo bamuddukirire okusobola okulaba nga muwala we afuna obujjajjabi.

“ Nze tewali ddwaaliro lye sitambuddemu  buli gyebasindika naye omwana wange agaanye okuwona, n’okutuusa kati simanyi kiruma mwana wange kubanga ekirwadde nga kino nze mbadde sikirabagako, ebigere bimu byekwata wamu ate ebirala bifufunyadde, ng’ekiro kyonna asula okutuusa ku mankya.”

Ronald Lubega nga mukubi wa bifaanannyi mu kibuga Mukono ng’ono y’omu ku baasooka okulaba omwana ono agamba nti  mu kusooka yalowooza nti omwana ono yali ayokedddwa kyokka oluvannyuma lw’okutuula ne nnyina n’amunyonyola saako n’okumulaga ebbaluwa z’amalwaliro agenjawulo, yatandika okutambula ng’abanoonya obuyambi,era nga naye alaajanidde abazirakisa okuvaayo badduukirire omwana ono kuba embeera ye mbi.

Rosemary Nabanja ne bba Isaya Kafeera nga be bannannyini nnyumba mukyala ono kw’ampagisa batubuulidde embeera omumpagisa waabwe gyawagaaliramu ssaako n’okusoomoza gwaliko nga n’olumu balowooza nti tatuuse kiseera kino, era basabye abazirakisa okuvaayo bayambeko ffamire eno.

Bo abatuuze bagamba nti singa omwana ono takwatizibweko, bazadde be badimufirwa nga noolwekyo yeetaaga kuyambibwa.

Alina obuyambi kuba ku 0707429384.

 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Omwana
akatulututu
avunze