Bya Ignatius Kamya
EKIVVULU ky'omuyimbi Jose Chameleone kyongezeddwaayo okutuuka nga February 24 oluvannyuma lw'enkuba okusuula siteegi.
Enkuba eyatandise ku ssaawa nga 8:00 n'ekitundu ezoolweggulo, yalese siteegi eri ku ttaka, ekyakubye abantu encukwe anti nga balaba ekivvulu ky'omuyimbi waabwe kiyinza okuba mu lusuubo.
Bebe Cool Bw'abadde Agenzeeko Mu Kifo Okulaba Ebibaddewo
Siteegi Eyagudde
Ebyuma Bya Siteegi Ebyagudde
Embeera Nga Bw'ebadde Nga Bamaze Okulangirira Nti Ekivvulu Ekyongezeddwaayo
Bangi balabidwa nga banyiikavu olw'ekyo ekyabaddewo kyokka Chamili olwayingidewo n'aleeta akaseko ku matama g'abantu olw'okubagumya.
Chamili eyazze ku ssaawa 10:00 ezoolweggulo yalambudde ekifo oluvannyuma n'ayogerako eri abantu n'abakakasa nti ekivvulu bagenda kukola enteekateeka bakiteekeyo omwezi guno nga 24, ekyasanyusiza abangi.
Kigambibwa nti waliwo abantu abawera abaalumiziddwa omuli n'omutegesi w'ekivvulu kino.