Omuwendo gw'abakazi abanoonya abasajja gweyongedde

May 07, 2024

OMUWENDO gwa bawala abanoonya abasajja ogw’eyongera buli lukya gweraliikirizza ekitongole ekivunaanyizibwa okuteekateeka abaagala okufumbirwa e Lubaga.

Okunnyonnyola

Nsimbi Ponsiano
Journalist @Bukedde
OMUWENDO gwa bawala abanoonya abasajja ogw’eyongera buli lukya gweraliikirizza ekitongole ekivunaanyizibwa okuteekateeka abaagala okufumbirwa e Lubaga.
Bino by’ogeddwa eyali nnabafumbo we Lubaga era ssentebe w’ekibiina ekivunaanyizibwa okuteekateeka abagenda mu bufumbo obutukuvu abagatibwa mu lutiiko e Lubaga ekya ‘’Tuesday Class’’ Jane Francis Muyimba mu lukungaana lwa bannamawulire olwatuziddwa ku lutikko e Lubaga okwanjula enteekateeka z’ebijaguzo bye myaka esatu egy’ekibiina omwegatiira abafumbo abagattibwa mu lutikko e Lubaga ekya Tuesday Class Alumni Association.
Muyimba ategeezezza nti abawala abali wakati w’emyaka 25 ne 30 n’okudda waggulu bangi tebali mu bufumbo kyokka ekitali kituufu nagamba nti kivudde ku nsonga ez’enjawulo okuli abawala okwagala abasajja abagagga,abazadde okusaba abavubuka ebintu ebingi mu kwanjula,okwagala okukola emikolo egy’ebbeeyi,okusoma ennyo n’ebirala.
Wabula ono agamba ng’oggyeko abatafumbirwa ng’ako waliwo n’abaaliko mu bufumbo ne bugaana olw’ensonga ezitali zimu abanoonya ababeezi, nga kati ono ayagala abazadde bonna batuukize obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana nga batandikira mu maka saako okufaayo ennyo ku nkuza y’omwana omulenzi nga bweguli ku b’obuwala.
Ssentebe w’ekibiina omwegattira abafumbo abagattibwa e Lubaga Benard Bahati alaze obukulu bw’ebikujjuko bino ebigenda okulemberwamu Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere ku Ssande eno okuli okutongoza ekibiina kya ky’okwekulaakulanya ,okutongoza ssemateeka w’ekibiina n’olusirika lw’abaana abali wakati w’emyaka 5 ne 19  olunabeerawo mu December w’omwaka guno.
Bahati yagambye nti olunaku luno lugenda ku kuzibwa ku mulamwa ogugamba nti ‘’Amaka y’Eklezia era essomero erisokerwako’’ ng ‘oluvannyuma lwa missa baakukungaanira mu kissaawe kya Uganda Martyr’s High school okwongera okumanyagana n’okwebulirira ku butume bwabwe.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});