POLIISI e Kira ekutte omuvubuka agambibwa okukuba abantu ppeeva n'abanyagako ebintu byabwe.
Joel Nkwasibwe bamukwatidde mu zzooni ya Balintuma e Kiwatule mu Kampala era nga babadde bamuyigga ku ttemu n'obubbi , ebizze bikolebwa.
Kitegeezeddwa nti nga July 6, omukwate, yakubye omugoba wa bboda ppeeva, n'amunyagako ebintu era nga mu kiseera kino, owabbooda ali mu kufuna bujjanjabi e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Racheal Kawala, ategeezezza nti waliwo n'abantu abalala abakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa.
Ate ye amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala , Luke Owoyesigyire, agambye nti mu bikwekweto ebirala ebyakoleddwa, baayodde 60 e Kawempe, mu Kibaati, e Kansanga Mutungo zzooni 1, ku nnya ne Bajjo , Ntinda ne Seeta Mukono ,e Kabalagala baakutte 30 , e Mukono 22, n'awalala.