Bya Sarah Zawedde
Omutaka w’omu Bwaise Micheal Ssali Kalimali eyakazibwako erya Kamalimali afudde .
Kalimali yafudde ku Lwokubiri ku ssaawa nga 3.00 ez’ekiro nga bamuyingiza mu ddwaaliro lya Lubaga okumujjanjaba.
Kalina Ya Kamalimali Eyasooka Mu Bwaise Nga Bw'efaanana.
Kamalimali ye yasooka okuzimba Kalina mu Bwaise nga bamubbulamu zooni ya Kamalimali mu muluka gwa Bwaise III mu munisipali ya Bwaise .
Fred Kiyimba Muzzukulu we yagambye nti jjaja yabadde alinamu omusujja n’obukosefu mu mu mubiri, omusawo we n’asalawo bamutwaleko mu ddwaaliro kyokka n’afa nga tebannamujjanjabako. Enteekateeka z’okumuziika zikyagenda mu maaso .