SARAH ZAWEDDE
ENTEEKATEEKA z’okuziika Omutaka w’e Bwaise Mzeei Kamalimali (102) ziwedde. Waakuziikibwa ku nkomerero y’omwezi guno nga October 30, 2021.
Micheal Ssali Kalimali gwe baakazaako erya Kamalimali yafudde ku Lwokubiri nga October 8, ku ssaawa nga 3.00 ez’ekiro mu ddwaaliro e Lubaga. Agenda kuziikibwa Kalagala – Kyampisi mu Mukono.
Omu ku booluganda lwe, Robert Balagadde yategeezezza nti babadde bakyalinda abaana b’omugenzi mukaaga abali mu Amerika ne Dubai be basuubira okutuuka ekiseera kyonna.
Yagambye nti omubiri gwe bagenda kusooka kugusabira ku Kkanisa ya St. Kizito e Bwaise ng’era mu kiseera kino omulambo guli mu kkampuni y’abafu