Amawulire

Omusuubuzi ali ku gw'okusangibwa n'emmunda n'amasasi akkirizza omusango

Abduh Aziizi Ssebayira 36, omutuuze mu Kijjura zone, Central Division e Masindi yavunaaniddwa mu kkooti y’amagye e Makindye okubeera n’emmundu ssaako amasasi nga talina lukusa.

Omusuubuzi ali ku gw'okusangibwa n'emmunda n'amasasi akkirizza omusango
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

OMUSUUBUZI w’e Masindi avunaaniddwa okubeera n’emmundu ssaako amasasi mu bukyamu, akkiriza emisango.

Abduh Aziizi Ssebayira 36, omutuuze mu Kijjura zone, Central Division e Masindi yavunaaniddwa mu kkooti y’amagye e Makindye okubeera n’emmundu ssaako amasasi nga talina lukusa.

Ssebayira emisango ebiri gyamusomeddwa ssentebe wa kkooti, Brig. Gen. Freeman Robert Mugabe era gyombi n’agikkiriza.

Ono yasooka kwegaana emisango gino kyokka ku mulundi guno bwe yaleeteddwa mu kkooti looya we Capt. Simon Nsubuga Busagwa n’ategeeza nti Ssebayira yakkiriziganyizza n’oludda oluwaabi mu nkola y’okukkiriza omusango n’oweebwa ekibonerezo ekisaamusaamu.

Bino byaliwo nga November 23, 2021 mu Kijjura Zooni bwe yasangibwa n’emmundu ekika kya SMG nnamba 56-212009401. Guddamu nga December 19, 2023 okumusalira
ekibonerezo.

Tags:
Mmundu
Mateeka
Kkooti
Musango