Omusomesa abadde asendasenda omuyizi we okumuwa akaboozi k’ekikulu akwatiddwa mu maka ga bazadde b’omuwala

17th January 2024

Omusomesa w'essomero lya ssekendule e Mityana, akwatiddwa poliisi y'e Kanyanya ku bigambibwa nti aliko omuyizi ow'emyaka 15 gw'abadde agezaako okusaba akaboozi n’okusobyako.

Omusomesa abadde asendasenda omuyizi we okumuwa akaboozi k’ekikulu akwatiddwa mu maka ga bazadde b’omuwala
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Mawano #Byewuunyisa #Muyizi #Musomesa #Kato John Ssenfuma #Hill side college mityana

Omusomesa w'essomero lya ssekendule e Mityana, akwatiddwa poliisi y'e Kanyanya ku bigambibwa nti aliko omuyizi ow'emyaka 15 gw'abadde agezaako okusaba akaboozi n’okusobyako.

John Kato Senfuma 40, nga musomesa e Mityana, kyokka ng'abeera Mukono , ye yakwatiddwa poliisi e Kanyanya.

(Akatambi abazadde b'omuyizi ke baamukutte ng'ali awaka w'omuyizi ono)

Okumukwata kyaddiridde okwemulugunya okwakoleddwa Sheilah 26, omu ku balabirira omwana ono, ng'ono mutuuze wa Erisa e Kyebando zzooni e Kawempe.

Kigambibwa nti abaawaka abakuuma omwana ono ow'emyaka 15 ng'asomero mu ssomero omusomesa gy'asomesa, beekengera nga balaba ku mukutu gwa whatsApp engeri omusomesa gye yali anyumyamu  n'omwana mu mesegi ekyavaamu ,omwana kwe kumuyita ajje awaka nga January 13 basisinkane.

Ssenfuma Ng'amaaso Gamumyuse.

Ssenfuma Ng'amaaso Gamumyuse.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti omusomesa bwe yatuuse awaka ,yabadde tannatuukiriza kigendererwa kye, we baamukwatidde ne bamuggalira ku poliisi e Kanyanya , ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.