ABOOOLUGANDA bavudde mu mbeera ne balumba omusamize gwe baapangisa ekifo nga bamulumiriza obutasasula ssente za bupangisa kati emyaka 2 kyokka bwe bamulagidde okuvaawo n’abategeeza nga bajajja bwe baasiima ekifo ky’alimu era tagenda kubatwala walala wonna.
Bino bibadde Bulaga mu zzooni A mu disitulikiti y’e Wakiso. Israel Nsubuga ng’awerekerwako abooluganda lwe, balumbye omusamize Maureen Nazziwa nnaalongo gwe yapangisa ennyumba ye, kyokka ye n’azimbawo essabo.
Essabo Nazziwa Lye Yakola.
Wabula, Nazziwa bwe baamulagidde okwamuka ekifo kino yakalambidde n’abategeeza nga ye bw’atalina gy’agenda kutwala bajjajja kuba n’ekifo mwe bali baakisiima era bwe baba baagala, Nsubuga ne banne bayingire mu mbuga banje ensonga baababuulire eky’okukola.
Waabaddewo ensasagge eyasombodde n’abatuuze ng’omusamize Nazziwa ne bba Emma Katende baakalambira nti, nabo tebaagala kulemera mu kifo kye baapangisa wabula bajjajja n’emisambwa be baasiima ekifo.
Nsubuga Eyapangisa Nazziwa Ekifo.
Nsubuga yagambye nti yapangisa Nazziwa ekifo ekyo emyaka 5 egiyise ku 100,000/ buli mwezi naye kati tasobola na kugendawo kuba yazimbawo essabo wonna n’asibawo nga ye ne bw’agendayo, abakuuma embuga baamugaana okuyingira ewuwe n’ennyumba endala gye yali yazimbawo gy’ataamupangisa kati tasobola kugigendako.
“Bwe yatandika okukuba ekibaati ku poloti yange yantegeeza nti, agenda kuteekawo embuga ye nti naye tayagala bantu kumulaba, n’ategeeza nti embuga eyo ya Maama Fiina akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga,” Nsubuga bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti okuva Covid lwe yabalukawo, Nazziwa yagaanira ddala okumusasula kye yava yasalawo okugenda ku LC ewa ssentebe eyayingira mu nsonga ze nga ayagala Nazziwa ave mu poloti ye n’ennyumba ze kyokka n’alemeramu ng’agamba nti emizimu gyasiima ekifo ekyo.
Ebbaluwa Nsubuga Gye Yawandiikira Nazziwa Ng'emulagira Okwamuka Ekifo.
“Yatandika okuteekawo ebyawongo ebimu ng’abyambaza amakanzu ne ddole ng’azambaza, ekintu kye sigenda kugumiikiriza. Ennyumba yange agikoleramu ebintu era sikyamanyi na bw’efaanana kati kuba yazingizaawo ekibaati mw’asawulira,” Nsubuga bwe yayongeddeko.
Ate Nazziwa ne bba Emma Katende bategeezezza nti, bakimanyi bulungi nti ekifo baakipangisa si kyabwe, nti era Nsubuga yamutegeeza nti agenda kukolerawo mirimu gya bajjajjaabe egy’obuwangwa n’akkiriza kyokka oluvannyuma Nsubuga n’amwefuulira nti ekifo kye akyagala kukitunda.
Yayongeddeko nti yamubuuza ssente mmeka z’ayagalawo nti kuba bajjajja n’emizimu ekifo baali bakisiimye nga tebayinza kuvaawo kyokka ye n’agaana okubaguzaawo.
Emu Ku Bbaluwa Ya Kkooti Eyali Eragira Nazziwa Okusasula Ebbanja Lye Yali Alina.
“Nze okusinziira ku buwangwa n'ennono, taata Kabaka okuva e Ttanda yangamba nti, ye wano tavaawo era Nsubuga ayogere ssente z’ayagalawo nzisasule”. Nazziwa bwe yagambye.
Ssentebe w’ekyalo, Lawrence Ssengendo yagambye nti, ensonga zino azimanyi bulungi era bannannyini poloti baamutuukirira n’atuuka n’okugendawo mu kifo ekyo n’akuba olukiiko ng’abatuuze nabo bamwemulugunyaako olw’okuwemulanga n’okukola bye batategeera, ne bamuwa nsalesale okuva mu kifo n’agaana.
Nazziwa Agaanye Okwamuka Ekifo Bw'afaanana.
Yaatandika okutegeeza nti, emisambwa gyasiima ekifo, kye beewuunya nti emisambwa gyo giwamba buwambi kwe kuwa Nsubuga amagezi agende mu kkooti emuwe olukusa olumuggyawo nti kubanga bo ab’ekyalo yabalemerera.
Abatuuze nabo bategeezzeza nti, Nazziwa bamutya olw’ebintu by’akolera mu ssabo nga bagamba nti yandiba nga bano be balaba ku Bukedde ttivvi ababeera n’obuwangwa bw’abantu bwe batyo ne basaba be kikwatako okubayamba abaviire ku kitundu kuba essabo yaliteeka mu batuuze wakati.
Ebimu Ku Bintu Ebiri Munda Mu Ssabo Nazziwa Lye Yakola.