OMUSAJJA agambibwa okwewola ssente eziwerako ne zimulemerera okusasula, bamusanze afiiridde emmanju w'ennyumba ye e Kanungu.
Fredian Friday 53, omutuuze w'e Kahama Cell mu ggombolola y'e Kanyantorogo e Kanungu , yasangiddwa nga mufu era poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku nfa y'omugenzi n'okuzuula ekituufu.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti okubuuliriza kulaga ng'omugenzi bw'aludde ng'ayita mu kusoomoozebwa olw'amabanja agabadde gamutudde mu bulago.
Agasseeko nti omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika okwongera okugwekebejja ng'okuzuula ekivuddeko okufa kwe, kugenda mu maaso