OMUMYUKA wa Pulezidenti Jesca Alupo enkya ya leero atuuse e Riyadh mu Saud Arabia okukiikirira Pulezidenti Museveni mu lukung'aana olw'omulundi ogw'omwenda olw'okukubaganya ebirowoozo ne bamusigansimbi wansi w'omulamwa oguamba nti okusiga ensimbi mu bantu kiggulawo enzigi ez'okugabana enkulaakulana.

Jesca Alupo nga bamwaniriza
Jesca Alupo olutuuse ku kisaawe ky'ennyonyi ekimanyiddwa nga Royal Terminal of King Khalid International Airport ayaniriziddwa omumyuka wa Gavanao wa Region ya Riyadh Omulangira Mohammad Bin Abdulrahman bin Abudulaziz ne Ambasada Isaac Biruma Ssebulime ssaako n'abakungu abalala