Amawulire

Bobi Wine asabye bannayuganda okussa ebbali  enjawukana basobole okununula eggwanga

Robert Kyagulanyi Ssentamu akubirizza Bannayuganda  okuteeka ku bali enjawukana z'amawanga,ediini n'endowooza ze by'obufuzi okusobola okununula eggwanga. 

Bobi Wine ng'asoma essomo
By: Nsimbi Ponsiano, Journalists @New Vision

Robert Kyagulanyi Ssentamu akubirizza Bannayuganda  okuteeka ku bali enjawukana z'amawanga,ediini n'endowooza ze by'obufuzi okusobola okununula eggwanga.

Bino abyogeredde ku lutikko ya Uganda Martyr's  e Lira mu mmisa ekulembeddwamu omusumba we Lira Bishop Sanctus Lino Wanok. 

Kyagulanyi agambye nti Bannayuganda basanye okuteeka enjawukana zaabwe ku bbali basonyiwagane begatte  okusobola okutwala eggwanga mu maaso.

Ono atenderezza Eklezia olw'okuyimirira nga ku mazima n'ensonga eziruma omuntu wabulijjo ng'enyikiza enjiri ey'okwagalana,okusonyiwagana,okwegatta n'empisa ez'obuntubulamu.

Bobi Wine ng'abuuza ku Bishop Uganda Matyrs Cathedral Lira

Bobi Wine ng'abuuza ku Bishop Uganda Matyrs Cathedral Lira

Omusumba Wanok mu asabye Bannayuganda okubeera abantu balamu,okwagalana n'okusonyiwagana ng'ebiragiro bya Katonda bwe bitulagira.

Atenderezza Kyagulanyi ne bannakibiina kye olw'okulembezanga Katonda nagamba ye muntu eyesimbyewo ku bwa pulezidenti asookedde ddala okubegattako mu kusaba mu lutikko eno.

Wabula agamba nti eklezia neteegefu okwaniriza buli muntu naddala mu kiseera kino nasaba abesimbyewo okuliwooza ennyo ku Katonda n'eggwanga lyonna nga motto ye ggwanga bwegamba.

Yekokodde enguzi mu bakozi bagavumenti nga bamu batuuse n'okugirya nga bewoolerezza olw'omusala omutono nasaba abatali betegeefu kuweereza bantu okwesonyiwa emirimu gino.

Kyagulanyi aweerekeddwako omumyuka we mu Northern Uganda Dr.Lina Zedriga n'abakilrmbeze abalala.

Tags: