WABADDEWO akasattiro, omuliro bwe gukutte ekisulo ky'abayizi ne gusaanyaawo ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi .
Bibadde ku ssomero lya Prime Junior School ku kyalo Bunanimi cell Southern Ward e Sironko, era ng'ebintu by'abayizi ebiwerako omuli ebitabo, engoye, kkeesi , engatto amasuuka, bulangiti , emifaliso n'ebirala , biweddewo.
Omuliro ogwasaanyizzaawo ebintu
Kigambibwa nti abayizi okuva ku kibiina kya P1 okutuuka ku P4 babadde basindikiddwa awaka okusobozesa abayizi b'ekibiina eky’omusanvu okukola obulungi ebigezo byabwe nga tebataataaganyiziddwa.
Ekisulo ky'abayizi abo kibadde kisibe nti kyokka balabidde awo nga muvaamu omukka mu kasolya era omuliro ne gusaasaana ne gwokya ebintu by'abayizi, omukulu w'essomero Okwir Kizito 35, n'atemya ku poliisi ebadduukiridde.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula ekivuddeko omuliro so ng'era tewali muyizi alumiziddwa wadde okufa.