EYALI omuduumizi w’eggye lya UPDF, Lt Gen Peter Elwelu, eyamanyibwa ennyo olw’okulumba olubiri lwa Rwenzururu e Kasese ali mu kunoonyezebwa awerennembe n’emisango gy’okwenyigira mu bikolwa by’okusekeeterera Gavumenti.
Akolanga omwogezi wa UPDF, Col. Chris Magezi yakakasizza nga bwe bamunoonya awerennembe n’emisango egy’enjawulo. Omuduumizi wa UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba yawadde Elwelu essaawa mbale yeeweeyo mu mikono gy’aboobuyinza oba si kyo bamulangirire ng’omuyeekera era bamukoleko.

Ezimu Ku Mmundu Ezigambibwa Nti Amagye Gaaziggye Mu Bimu Ku Bifo Bya Elwelu
BALAZE EBYOKULWANYISA EBYAKWATIDDWA
Omuduumizi w’amagye yalaze ebyokulwanyisa okuli emmundu n’amasasi bye yagambye nti byaggyiddwa mu maka ga Elwelu e Teso. “Tukutte ne mukazi wa Elwelu abadde amukuba okumala emyaka munaana , era y’ensonga lwaki abadde atunula ng’ataliiwo mu Palamenti olw’okutulugunya kwabadde ayitamu mu maka” bwe yategeezezza.
Ensonda mu magye zaategeezezza nti Elwelu abadde akunga abantu b’okukozesa mu kusekeeterera Gavumenti nga yeeyambisa ebibinja bya Arrow Boys ayamala n’okubaleeta mu Kampala. Arrow Boys byali bibinja by’abantu
ebyatondebwawo mu 2003 mu Teso n’ekigendererwa ky’okulwanyisa abayeekera ba LRA abaali bakulemberwa Joseph Kony.

Gen. Elwelu Bw'afaanana
Gen. Muhoozi Kainerugaba yakuzizza Brig Oscar Munanura n’amufuula Major General era n’amufuula akulira ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chief of Defence Intelligence and Security (CDIS). Munanura y’abadde omumyuka
w’akulira ekitongole kya CDIS ng’amyuka Maj. Gen. Richard Otto alindiridde okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala.
Munanura yayingira amagye mu 1998 nga bwe yamaliriza okutendekebwa yasindikibwa ku kutendekebwa nga Kadeeti n’afuluma mu 2000 era nga yali mu kibinja ky’ekimu ne Gen. Muhoozi Kainerugaba. Akola nga omwogezi
wa UPDF, Col Chris Magezi ye yafulumizza ekiwandiiko ekiraga okulondebwa kwa Munanura.