Omuliro gukutte ekisulo ky'essomero e Mitooma ebintu bya bukadde ne bisaanawo!

Bino, bibadde ku ssomero lya Kyeibare Girls SSS mu tawuni ya Mutara mu Ruhinda South mu disitulikiti y'e Mitooma ekiro.

Omuliro gukutte ekisulo ky'essomero e Mitooma ebintu bya bukadde ne bisaanawo!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Muliro #Kukwata #Kisulo #Bukadde #Kusaanawo

Ebintu ebibalirirwamu bukadde bw'ensimbi bisaanyeewo, omuliro bwe gukutte ekisulo ky'essomero e Mitooma.

Bino, bibadde ku ssomero lya Kyeibare Girls SSS mu tawuni ya Mutara mu Ruhinda South mu disitulikiti y'e Mitooma ekiro.

Omwana omuwala omu yakoseddwa, okugulu bwe kufunyeemu obuzibu ng'agezaako okutaasa ebintu bye era nga mu kiseera kino ali mukufuna obujjanjjabi mu Mutara Health Centre 3

Omubaka wa gavumenti e Mitooma, Kibuuka Amooti, ategeezezza nti ebintu by'abayizi omuli emifaliso, bulangiti, engoye, ebitabo ne kalonda omulala, byonna biweddewo.

Awanjagidde ofiisi ya Katikkiro wa Uganda,minisitule y'ebibamba, okubadduukirira basobole okugenda mu maaso n'emisomo.

Ayongeddeko nti omuliro gwaliba nga gwavudde ku masannyalaze naye ng'okunoonyereza, kugenda mu maaso.