Omulamuzi Mugambe atandise okuwoza ogw’okukozesa omuntu mu buddu

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Lydia Mugambe 49, atandise okuwozesebwa mu Bungereza ku musango gw’okukozesa omuntu mu buddu.

Omulamuzi Lydia Mugambe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Lydia Mugambe 49, atandise okuwozesebwa mu Bungereza ku musango gw’okukozesa omuntu mu buddu.
Kigambibwa nti Mugambe yabuzaabuza omukyala (amannya agasirikiddwa) okuva mu Uganda n’amutwala e Bungereza okukola ng’omuddu nga tasasulwa nga ye bw’asoma diguli ye ey’okusatu [Phd] mu mateeka mu yunivasite ya Oxford University.
Lipooti y’omuwaabi wa gavumenti eraga nti Mugambe yeekobaana n’omukungu wa Uganda, John Leonard Mugerwa ne batwala omukyala ono mu Bungereza okulabirira abaana ba Mugambe nga tasasulwa.
Nti oluvannyuma yawamba paasipooti ye era nga buli lwe yeetaaga ebiwandiiko ebimwogerwako alina kusooka kwegayirira Mugambe okubifuna.
Kigambibwa nti Mugambe poliisi bwe yali yaakamukwata yasooka kweyita mukungu okuva mu Uganda nga n’olwekyo amateeka g’ensi endala tegayinza kumuvunaana.
Okusinziira ku mateeka ga Bungereza singa Mugambe anaasingisibwa omusango guno ajja kuweebwa ekibonerezo kya kumala emyaka 10, nga takkirizibwa kulinnya Bungereza oba okusibwa emyaka egiwera mu Bungereza nga kw’otadde n’okusasula engassi.
Kigambibwa nti Mugambe bwe yali atwala omukyala ono ye yamukolera ku mpapula zonna okuli okumufunira Viza y’e Bungereza ne tiketi y’ennyonyi.
Wabula kigambibwa nti omukyala ono bwe yatuuka e Bungereza bwe waayita ebbanga yafuna emikwano egyamugamba nti mukamawe amuwa ssente ntono, kwe kusalawo ne yeetwala mu banoonyi b’obubudamu nga ly’ekkubo ly’ayinza okuyitamu okufuna omulimu omulala ogumusasula obulungi. Amateeka ga Bungerezza gali nti omukozi asemberayo okusasula ssente eza wansi omwaka abeera tateekeddwa kukka wansi wa bukadde 86.
Nga October 29, 2024, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo yagamba nti akwataganya ensonga zino ng’ayambibwako ebitongole ebivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango era bw’anaa-maliriza waakwanjula by’anaafuna