Omulamuzi Masene alese abaana 38

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu eyafudde n’aleka abaana 38 akyayogeza abantu obwama ne beewuunya omusajja abadde amala obudde mu kukebera fayiro n’okusoma ebiwandiiko engeri gye yabazaalamu.Wilson Masalu Musene abadde yaakawummula ng’omulamuzi wa Kkooti Enkulu. Yafiiridde ku myaka 67 era yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Buduuda wiiki ewedde.Ekitiibwa ab’e Mbale kye babadde

Omulamuzi Masene alese abaana 38
By Bukkedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu eyafudde n’aleka abaana 38 akyayogeza abantu obwama ne beewuunya omusajja abadde amala obudde mu kukebera fayiro n’okusoma ebiwandiiko engeri gye yabazaalamu.
Wilson Masalu Musene abadde yaakawummula ng’omulamuzi wa Kkooti Enkulu. Yafiiridde ku myaka 67 era yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Buduuda wiiki ewedde.
Ekitiibwa ab’e Mbale kye babadde
bamuwa kyatuusa ne mikwano gye okumupaatiikako erinnya lya ‘Son of the man’ ekitegeeza omwana w’omusajja. Abakungubazi abeetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu Kkanisa Lutikko eya St. Andrews e Mbale baasoose kuwuniikirira
bwe baasomye ebikwata ku bulamu bw’omugenzi ng’alese abaana 38. Kyokka mu kiseera we yafiiridde nga wasigaddewo 33 oluvannyuma lw’abataano okufa.
Mu bamulekwa kwe kwabadde
n’eyali omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Bududa Justin Khainza n’abato ennyo abali wansi w’emyaka 10.
Ensonda mu ffamire zaategeezezza nti okuva omulamuzi lwe yafudde abakazi baatandise okwesomba nga baleeta abaana, wadde ng’omugenzi abadde n’omukazi
amanyiddwa Joyce Nakawoya Musene gwe yagattibwa naye nga April 28, 2018.
Omugenzi abadde alina abaana mukaaga bokka ne Nakawoya olwo abasigadde yabazaala mu bakazi banjawulo.
Mu kusaba mu Kkanisa bamulekwa baayambadde engoye enzirugavu ate bannamwandu abamu ne bambala ggomesi enjeru. Abaana kyategeezeddwa nti baavudde
mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo naddala omugenzi gyazze aweerereza ng’omulamuzi.
Musene ezimu ku kkooti ze yakoleramu obulamuzi kuliko; e Kapchorwa gye yatandikira ng’omulamuzi w’eddaala erisooka mu 1989, Tororo, Kabale, Mengo, Mubende n’oluvannyuma n’alondebwa okubeera omulamuzi wa Kkooti Enkulu.
Omulamuzi Justice Wangutusi eyakiikiridde ekitongole ekiramuzi yayogedde ku Musese ng’abadde omusajja omukozi.
“Olw’okuba ng’omugenzi abadde ne ffamire ennene, tubadde twamukazaako lya ‘Mwana wa Musajja’. Ffamire abadde agiwa obudde era ng’amanyiddwa nti buli wiikendi abeera Mbale mu baana be ne mukyalawe”, Wangutusi bwe yagambye.
Abalamuzi ba kkooti ensukkulumu, ejulirwamu, Kkooti Enkulu ne kkooti ento n’abakozi b’ekitongole ekiramuzi bangi beetabye mu kuziika. Wangutusi yasabye abaana obutalwanira byabugagga bya kitaabwe by’alese kuba yabaweerera ra basobola bulungi okwebezaawo. “Kijja kuba kibi okubalab nga muleeteddwa mu maaso g’abalamuzi abo olw’okuba mukaayanira ebyobugagga bya kitammwe”, Bwe yayogedde. David Wakikona eyayogedde ku lw’emikwano gy’omugenzi yagambye nti babadde baamukazaako lya ‘Mwana wa Musajja’ kuba bw’oba towera tosobola kuyimirizaawo ffamire ya baana 33. Ekyewuunyisa abadde atuusa
ebyetaago ku baana be bonna era nga bonna abaweerera. Yayongeddeko nti omugenzi abadde tasiba busungu ng abwe musoowagana ku makya, ku ssaawa musanvu mulya mwenna ekyemisana. Bamulekwa baayogedde ku kitaabwe ng’abadde abafaako ennyo era nga bwe kituuka ku by’okusoma tayagala mwana we kubaako ky’ajula