Mmotoka y'abagambibwa okuba ababbi b'ente etomedde loole abagibaddemu ne badduka

MMOTOKA ebadde etambuzibwamu ente enzibe ekoonaganye ne loole y'omusenyu  ababbi  ne bavaamu ne badduka.

Mmotoka y'abagambibwa okuba ababbi b'ente etomedde loole abagibaddemu ne badduka
By NewVision Reporter
Journalists @NewVision
#Amawulire #Nte #Loole #Babbi #UAQ 876S #Kampala #Kawanda

MMOTOKA ebadde etambuzibwamu ente enzibe ekoonaganye ne loole y'omusenyu  ababbi  ne bavaamu ne badduka.

Akabenje kano kagudde mu mugga mayanja  e Kawanda ku luguudo lw’e Bombo mmotoka ekika kya Regious nnamba UAQ 876S eyabadde epakiddwamu ente 4 bw’ekoonaganye ne’y’omusenyu.

Ezimu Ku Nte ezaasangiddwa mu kiyumba

Ezimu Ku Nte ezaasangiddwa mu kiyumba

Poliisi y’e Kawempe yagenze okutuuka yasanzeewo mmotoka n’ente nga bbo ababbi baamazeemu dda omusubi.

Muhammod Kibe  yagambye nti mmotoka eyabadde etambuliramu abagambibwa okuba ababbi yabadde ku misinde bwe baatuuse mu mugga gwa mayanja e Kawanda omugoba waayo ne yekanga looe eyabadde etisse omusenyu nga nayo edda Kampala n’agikoona emabega ng'abaagibaddemu abataategeerekese muwendo baavuddemu ne badduka.