Omulabirizi we Luwero avumiridde enguzi eyeetobesa mu kulonda

OMULABIRIZI wa Luweero Eridard Kironde Nsubuga mwennyamivu olw'ebyobufuzi okuva ku mulamwa abeesimbyewo ne bayiwa ssente okugulirira abalonzi ekibalobera okusalawo obulungi abantu abatuufu.

Omulabirizi we Luwero avumiridde enguzi eyeetobesa mu kulonda
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
OMULABIRIZI wa Luweero Eridard Kironde Nsubuga mwennyamivu olw'ebyobufuzi okuva ku mulamwa abeesimbyewo ne bayiwa ssente okugulirira abalonzi ekibalobera okusalawo obulungi abantu abatuufu.
 
Yagambye nti n'abayiwa ssente mu bululu ebiseera ebisinga tebakomawo mu balonzi kubakolera kuba babeeera baagula bagule n'asaba omuze guno gukomezebwa olw'okutwala eggwanga mu maaso.
 
Bino yabyogeredde ku kitebe ky'obulabirizi e Luweero abasomesa mu masomero g'ekkanisa mu bulabirizi buno obutwala Luweero, Nakaseke ne Nakasongola bwe baabadde bakuza olunaku lwabwe.t
 
Yasabye abali mu bululu beewale olulimi olwawula n'okuvuma ate abalonzi n'abasaba okwewala effujjo.
 
byte
 
Ng'atuuse ku mulamwa gw'olunaku ogwasimbuddwa mu Bagalatiya 6:9 omulabirizi Nsubuga yasabye abasomesa okukola obulungi omulimu gwabwe n'agugumbula abakulu b'amasomero abalya ssente z'abayizi ne batakola bigezo ne battatana ebiseera byabwe eby'omumaaso.