Eyaliko RDC Burora kkooti emwejjeerezza ku misango gy'okusiga obukyayi mu bantu

EYEEGWANYIZA eky'omubaka wa Palamenti mu Nakawa West, Herbert Anderson Burora kkooti emuggyeeko emisango.

Eyaliko RDC Burora kkooti emwejjeerezza ku misango gy'okusiga obukyayi mu bantu
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Amawulire #RDC #Misango #Bantu #Kwejjeereza #Nakawa

EYEEGWANYIZA eky'omubaka wa Palamenti mu Nakawa West, Herbert Anderson Burora kkooti emuggyeeko emisango.

Ssabawaabi wa gavumenti, Jane Francis Abodo yaggyeeko Burora emisango egyali gyamuggulwako mu July wa 2024 ku bigambibwa nti yasaasaanya obubaka obwali obusiga obukyayi mu ggwanga.


 
Burora abadde awerennemba n'emisango 6 omuli egy'okusiga obukyayi wamu n'okusaasaanya obubaka obukyamu ku sipiika wa palaamenti.

Bino byaliwo wakati w'omwezi gwa March ne June mu bitundu bya Kampala ng'akozesa kkompyuta ku mukutu gwe ogwa X ng'akozesa amannya @HarderHB yasaasanya obubaka obukyamu ku sipiika wa palamenti nga agamba nti mutemu, atulugunya abantu, agamba abantu nti ono alya enguzi.

Bino byonna nga byali bireetawo obusosoze n'okusiga obukyayi wabula nga emisango gino gyonna yagyegaana era n'ateebwa ku kakalu ka kkooti. Abadde awozesebwa ng'ava bweru wa kikomera.

Okuggyibwako emisango kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze okutegeeza omulamuzi Ronald Kayizzi nga ssaabawaabi bwe yaggye enta mu misango gino awatali nsonga yonna.