Kavuma yaweereddwa abamyuka basatu okuli; Dr. Timothy Muteesasira ng'omumyuka asooka era nga y'avunanyizibwa ku by'ensimbi., Mwanje Felix Ssemujju ye mumyuka ow'okubiri era avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu olwo Moses Ssekidde n'abeera omumyuka ow'okusatu era nga y'avunanyizibwa ku mbeera z'abantu.
Bano baalayiziddwa ku Butaka bw'ekika kino obusangibwa e Buteesasira, Butambala ku Lwomukaaga December 11, 2021.
085dadf6 44e0 459c B70f Da2c57ca4cdc
Omutaka Muteesasira yabasabye okukola ennyo nga bateerawo ekika Pulojekiti ezisobola okukiyimirizaawo ate n'okubeera nti kyenyigira nnyo mu nteekateeka z'Obwakabaka.
OLUKIIKO MU BUJJUVU:
1. Katikkiro - Eng. Kavuma Francis
2. Omumyuka Asooka (Ebyensimbi) - Dr. Mutesaasira Timothy
3. Omumyuka Ow'okubiri (Ntambuza Y'emirimu) - Mwanje Felix Ssemuju
4. Omumyuka Ow'okusatu (Mbeera Za Bantu) - Ssekidde Moses
5. Omukubiriza W'Enkiiko - Mwanje Ishaak
6. Omumyuka W'omukubiriza W'Enkiiko - Lubowa Ssenkwanzi
70d2f347 D2d3 4b7b A68c A4d1e90dca16
2f4b19ab 4c40 41ea 9f4b 77c455743f28
9f713d04 Ee88 4203 9689 E53f22830793