Poliisi ekutte abayizi 20 abagambibwa okukuba omukulu w'essomero n'okumunyagako ssente n'ebintu.
Bano, bayizi ba siniya ey’omukaaga ku ssomero lya Mahyoro S S S mu disitulikiti y'e Kitagendwa .
Vidiyo gye baataddeyo
Kigambibwa nti bano baasibye heedimaasita waabwe Denis Baguma omutuuze w'e Nyakasura cell mu ggombolola y'e Mahyoro emiguwa ne batandika okumukuba.
Abayizi era nti baayise Baguma mu kibiina mwe baabadde , nga bagamba nti baabadde n'ensonga zaabwe ze baabadde baagala okumunnyonnyola.
Kigambibwa nti ng'amaze okuyingira, omu ku bayizi Peter Bizimungu, yaggadde oluggi, abayizi abalala ne bamukkakkanako ne bamukuba , ne bamunyagako essimu ebalirirwamu emitwalo 93, ssente enkalu 150,000/ n'ebimu ku biwandiiko bye.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori West ,Vicent Twesige, agambye nti abamu ku bayizi abaakwatiddwa, kuliko Peter Bizimungu, Collins Jjuuko , Kenneth Ngabirano,ne Bright Alex Buregeya.
Abalala ye Edwin Akansemeza, Francis Bampabura, Owen Nasaasira, Nicholas Nsaba, Mikayiri Twiziremana, Edwin Akansinguza , Derrick Arinaitwe n'abalala era ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso.