Ssemaka alumirizza mukazi we ow’abaana munaana nti mwenzi wa bbaluwa kubanga yatuuka n’okubotola ekituli mu kisenge ky’enyumba okumpi n’ekitanda, omusiguze w’ayisa akati nga amuzuukusa okumuggulira mu matumbi budde.
Omukazi abiyise bya kuwayiriza nga agamba nti bba yamusuulawo okumala emyaka mukaaga era tewali musajja mulala gweyali alabye nga kati yepiika makerenda okusobola okwekakkanya.
Juliet Aketch agamba nti yafumbirwa Gerald Oburu mu 1994 era baatandikirawo okukola beezimbe ne bagula ente n’ebibanja 12 nga kati omusajja bweyaziweza yatandikirawo kuwasa bakazi balala era nga kati omugatte alina amaka ana (4) n’abaana 30.
Bano batuuze ku kyalo Kyengera mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.
Oburu alumiriza mukyala we obwenzi
Aketch agamba nti bba afumbirira bigambo nga akweka ensobi ze ez’okusuulirira amaka kubanga ssi nti kyali kituufu ssinga talumwa mugongo era nga n’omusawo amukolako amuyimbiridde yefunireyo omusajja kyokka ye Aketch n’agaana nga yekubira Oburu nti osanga aneekuba mu kifuba n’akuba enkyukira.
Oburu abadde akyanyonyola ebikolwa bya mukazi we Aketch mw’annyina n’amulumba okumunenya olw’okulagajjalira amaka era ne bavaawo bubi nnyo.
Bino okuvaayo Collins Kafeero ow’eddembe ly’obuntu, amaka n’abaana abadde atuuzizza olukiiko okugonjoola obutakkaanya mu bafumbo bano wamu n’okusomesa abatuuze beewale obutabanguko bw’omu maka kubanga busaanyizzaawo amaka n’abamu ne babufiiramu ate era gavumenti kati yagufuula musango mu tteeka lya Gender Based Violance.
Oburu awadde mukazi we obukwakkulizo nti alina omukumugatta olw’okuleeta omusajja mu buliri bwe era nti mu buwangwa bw’Abadaama omukazi abw’ayenda ateekeddwa okugulira bba embuzi n’okufumba ekijjulo alyokke asonyiyibwe.
Kafeero ng'ali mu maka ga Oburu ne Aketch
Aketch agamba nti bba bakazi be abalaal bamutadde ku nninga atunde ku bibanja era nga waliwo ekimu ku bibanja Oburu kyeyapangisizza ate nga Aketch abadde alimiriramu emmere.
Abafumbo bano obwedda beeyogerera bino nga abataka babeegese amaaso.
Collins Kafeero agambye nti Oburu waddembe okuwasa abakazi omuwendo gwonna gw’ayagala wabula buli mukazi ateekeddwa okumufunira ebintu bye by’akozesa.
Kafeero alagidde Oburu gweyapangisizza ekibanja amuddize ssente omukazi agende mu maaso n’okulya emmere ye mu kibanja ekyo n’abalagira bagende mu ofiisi ye wiiki ejja bongere okutereeza obutakkanya obulala obuliwo