Amawulire

Omukazi w’e Nansana bamukwatidde e Kiboga ng’akukusa abaana 40

POLIISI y’e Bukomero mu Kiboga ekutte omukazi Jesca Nakayima, n’abaana abakunukkiriza mu 40, be yagye ku bazadde baabwe mu bitundu by’e Nansanang’abasuubizza okubawa bbasale basomere bwereere ku ssomero erimu e Kiboga.

Abamu ku baana abaabadde batwaliddwa e Kiboga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y’e Bukomero mu Kiboga ekutte omukazi Jesca Nakayima, n’abaana abakunukkiriza mu 40, be yagye ku bazadde baabwe mu bitundu by’e Nansana
ng’abasuubizza okubawa bbasale basomere bwereere ku ssomero erimu e Kiboga.
Essomero gye yabadde atutte abaana liyitibwa Kikoowa Good Samaritan nga lya musumba Alex Mitala, erisangibwa e Bukomer mu disitulikiti y’e Kiboga.
Bazadde b’abaana bano be twasanze ku Poliisi y’omu Lubigi nga banonye abaana baabwe, baatugambye nti Nakayima yayita mu bitundu byabwe okuli Nsumbi,
Kazinga, Kyebando n’awalala n’abategeeza nga bwalina essomero erigenda okulabirira abaana bano n’okubasomesa ku bwereere, era yawandiika abaana abasoba mu 35.
Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, Nakayima yaleeta emmotoka nnamba UAW 850A n’attika abaana bonna abazadde be baamuwa, wamu n’ebintu byabwe ne boolekera

e Kiboga awali essomero.
Ddereeva w’emmotoka eyavuga abaana bano Alex Mukulu Muwanika yagambye nti Nakayima yamukubira essimu n’amugamba nti ayagala amuvugire abaana abatwale e Bukomero ne balagaana emitwalo 80, kyokka n’asooka amuwaako 17 anywe amafuta,
ng’endala yabadde waakuzimuwa nga omulimu guwedde.
Mukulu yannyonnyodde nti bwe baatuuka ku ssomero, baaganibwa okuyingira era ekyaddako kwali kubaleetera Poliisi y’e Bukomero, nayo n’ebakomyawo e Nansana
gye baava.
Mwanyina wa Nakayima Stephen Kyobe yagambye nti mwanyin  lina obulwadde bw’omutwe era abadde yaakava e Butabika, kyokka eby’embi eddagala n’alivaako ng’agamba nti yasenga Yesu n’amuwonya obulwadde bw’omutwe.
Yayongeddeko nti mu kukuh− haanya abaana bano, yali agamba nti Mwoyo Mutukuvu ye yamutumye okusomesa abaana bano ku bwereere.
Omusumba Mitala bwe twayogeddeko naye ku lukomo lw’essimu yagambye nti Nakayima tamumanyi era tebalina ndagaano ya kusomesa baana be yabadde
atutte ku ssomero lye.
Abakozi abali ku ssomero lino Mitala yagambye nti baamunnyonnyodde nga Nakayima bwe yaleese abaana bano ng’agamba nti Mwoyo ye yamulagidde abaleete
basomere ku bwereere, era n’essomero lino Mukama yalimuwadde lifuuke lirye. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Nakayima yatabukako omutwe era abadde ajjanjabibwa e Butabika, n’asaba abazadde okwegendereza abantu be bawa abaana baabwe naddala
mu by’okubaweerera ku bwereere kubanga bajja kugwa ku mitawaana nga gino era nga kikosa n’okusoma kw’abaana baabwe olwa ttaamu eyatandika edda

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: