Omukazi agambibwa okuleka sigiri kw'afumbira mu nnyumba ng'eyaka, afudde ekiziyiro n'omulambo gwe ne bagusanga nga guvundidde mu nnyumba.
Ruth Nakayiza 48 abadde mutuuze w'e Mityana Central Cell, yasemba okulabibwako nga June 14 okutuusa baliraanwa lwe bawulidde ekivundu ne bayita ssentebe wa LC1 era naye ensonga n'azongerayo e Namukozi ku poliisi ne bazuula omulambo mu nnyumba.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okunoonyereza kulaga nga yafudde kiziyiro era n'alabula abantu okubeera abegendereza ennyo eri ebintu by'omuliro naddala mu mayumba.