Abantu bakyagenda mu maaso n'okweyiwa ku mbuga y'eggombolola e Buwama, Bukedde gy’etegese olusiisira lw'ebyobulamu, ne pulogulaamu zaayo ez’enjawulo.

Mwotta, omu ku bakulira bakitunzi ba kkampuni ya Vision Group ng'awaayo omusaayi e Buwama
Mu birala bye bajjumbidde, mwe muli okugaba omusaayi, okwekebera endwadde ez’enjawulo n'okubabuulirira okulwanyisa n'okuziyiza endwadde ezitali zimu.
Abantu basanyukidde nnyo abakozi ba Bukedde n'empeereza zaabwe era abamu ne beetaba butereevu okuweereza pulogulaamu n'okukubaganya ebirowoozo.
Ebimu ku bye beemulugunyizzaako, mwe muli okubasasuza ssente nga bafuna endagamuntu , ekibbattaka, n'obutali butebenkevu mu kitundu.
Enteekateeka ekyagenda mu maaso era nga tulina omupiira olweggulo.