Omukadde ow’emyaka 107 yeekubidde enduulu-omugagga eyamutwalako ettaka mu lukwesikwesi amufuukidde ekizibu
Eyali omusumba w’Abadventi, Eridadi Mwanje Mwesige aweza emyaka 107 bwe ddu yeekubidde enduulu eri ab’obuyinza n’abakwatibwako bamutaase ku mugagga gw’agamba nti oluvannyuma lw’okumuferako ettaka lye ate yeefunyiridde ku kumusibako ebisangosango ekisusse okumukubya puleesa.
Musumba Mwesige nga mutuuze ku kyalo Jjoggo mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ensi gw’efundiridde ng’agamba nti ate kati omugagga Ronnie Lutale teyakoma ku kumuwudiisa kyokka, wabula agenze amuggulako n’emisango mu kkooti ne mu woofiisi ya RDC w’e Mukono ng’ate ye gw’alaga ng’omubbi ekitali kituufu.
Ono gwe tusanze mu maka ge enkya ya leero atutegeezezza nti oluvannyuma lw’abaana be bana ku mukaaga be yazaala okufa ate ababiri be yasigazaawo ne batamulabirira ku myaka egy’obukadde, yasalawo atunde ku ttaka lye ffuuti 50x100 wabula Lutale eyamutuukirira nga yeeyise munnamateeka yamukwata obujega n’amukolera buli kimu omuli n’endagaano ye kennyini gye yawandiika n’omukono gwe ng’alaga nga bwe yamuguza ettaka kyokka eno olwamugwa mu ttaano eby’okumusasula ensimbi obukadde 17 ze bakkaanyaako na buli kati afuma bifume.
Ewaka wa Eridadi Mwanje Mwesige
Wadde obugambibwa okuba obuguzi bwakolebwa mu mwaka gwa 2021, endagaano Lutale gy’alina eraga nti yagula mu mwaka gwa 2019 nga ne sitampu ya ssentebe w’ekyalo nayo kye kimu ky’eraga.
Musumba agamba nti Lutale yakola olukwesikwesi n’omulenzi eyali amulabirira, Robert Kange n’amuvuga ku pikipiki n’amutwala e Nabbingo gye baakolera endagaano bwe byaggwa ne bamukomyawo nga tebamuwadde wadde omunwe gw’ensimbi.
Mukyala wa Musumba, Christine Mwesige agambye nti ate Lutale kye yakola kwe kusasula omulenzi Kange ensimbi obukadde 3 n’amulagira n’adduka ne ku kyalo nga n’essimu yaziggyako.
Christine ajulidde nti wabula yalaba ku Lutale emirundi ebiri ng’aleetedde Musumba ensimbi emitwalo ataano ataano nga kw’ezo kwe yakoma nga n’ettaka kati yalitunda n’aliguza omuntu omulala.
Ettaka erikaayanirwa liri ku Block nnamba 101 plot 7005 Jjoggo-mu munisipaali y’e Mukono. Oluvannyuma lw’ebbanga nga tunoonya Lutale abeeko ky’ayogera ku nsonga zino, twamusisinkanye wabula n’agaana okubaako ky’ayogera ku kkamera ng’agamba kimu nti ye ettaka yaligula na ssente ze.
Ettaka erigambibwa okuwambibwa ku Mzee
Tutuukiridde ssentebe w’ekyalo Samson Yiga annyonnyodde nti ye Lutale bwe yamutwalira endagaano ye kennyini yeesitula n’agenda ewa Musumba n’amukakasa nga kituufu bwe yaguza Lutale ettaka ng’era awo naye kwe yasinziira endagaano n’agiteekako sitampu.
Ku ky’okuba ng’obugambibwa okuba obuguzi bwaliwo mu mwaka gwa 2021 ate ng’endagaano eraga 2019, ssentebe Yiga agamba nti Lutale bwatyo bwe yamulagira okukola kuba bbo gye baakolera obuguzi bwabwe teyaliiyo.
Ssentebe wa’abakadde mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Ahmed Kakande agambye nti Musumba yeekubira enduulu gy’ali ng’ayagala amutaase ku Lutale wadde ng’ebbanga lyonna abadde anoonya Lutale tamulabangako. Asabye Lutale okuvaamu mu bulambulukufu alage butya bwe yagula ettaka lya Musumba n’ensimbi yazimuwa atya era baani abaaliwo ng’abajulizi.