AMBASADA wa America mu Uganda, H.E Natalie Brown asabye abaana abawala abakyali mu masomero okubeera abavumu mu buli kye bakola era banywerere ku birooto byabwe lwe bajja okubeera ab’enjawulo mu nsi eno.
Yabyogeredde Nabisunsa Girls’ Secondary School bwe yabadde asisinkanye abayizi n’abasomesa ku Lwokusatu.
Yasabye gavumenti okwongera okufaayo ku mbeera z’abaana abawala kubanga be bazadde era abakulembeze b’enkya abajja okutwala eggwanga mu maaso.
Omukolo gwetabiddwaako Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu eyategeezezza nti essomero lino lyatandikibwawo n’ekigendererwa ky’okusomesa omwana omuwala okulaba ng’akulira mu ddiini n’alaga essanyu okulaba nga likyagenda mu maaso ku mpagi ezaalitandisaawo.
Akulira essomero lino, Hajati Zulaika Nabukeera Kabuye yalaze essanyu olw’okukyaza abagenyi bano n’asaba abawala okufaayo okubeerako eky’enjawulo kye babeera mu nsi eno.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi ku ssomero lino, Jumah Yusuf Walusimbi yasanyukidde obugenyi buno ne yeebaza olw’ebyo ebyasuubiziddwa okwongerwa mu ssomero lino.