Okwabya olumbe; Emitendera gy’oyitamu okulutambuza

OKWABYA olumbe kye kimu ku by’obuwangwa ebikolebwa era nga buli muntu afa n’aleka abaana ayabizibwa olumbe.

Omutaka Christopher Kirabira Mpindi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OKWABYA olumbe kye kimu ku by’obuwangwa ebikolebwa era nga buli muntu afa n’aleka abaana ayabizibwa olumbe.
Omutaka Christopher Kirabira Mpindi 84, mutuuze w’e Garuga Bulega - Katomi - Katabi e Ntebe nga mubaka wa Kayiira mu Ssaza ly’e Busiro, katikkiro wa Kaddu Ssekayiba e Ssenge - Busiro, Mukulu wa Luggya lwa Ssaabataka, alambulula ebikwata ku kwabya olumbe:
EKYAVAAKO OKWABYA OLUMBE
Eby’ennono okutuuka wetulibyatandikira ku Ssekabaka Kintu, eyo mu mwaka gwa 1249. Kabaka oyo bwe yatuula n’Abataka oluvannyuma abaafuuka ab’obusolya baakola enteekateeka ey’Obwakabaka n’Ebika engeri gye binaatambulangamu. Nga mw’ebyo mwe mwali n’eky’okulowooza ku muntu bw’aba afudde, Abaganda, ne bakiraba nti, omuntu bw’anaafanga wanaayitanga ebbanga eggere olumbe lwe ne lutambuzibwa mu mitendera gyonna oluvannyuma ne lwabizibwa.
OKUTAMBUZA OLUMBE 1 Omutendera ogusooka gwa mu nnyumba omuntu oyo mw’ava. Wano ab’ennyumba bwe batuula, ekisooka bw’aba omusajja wayitawo emyezi
mwenda ne bawandiika ebbaluwa esaba okwabya olumbe lw’omugenzi oyo.
Wabula nga ebbaluwa tennawandiikibwa ab’omu nnyumba basooka kukakasa nti, bagonjodde ensonga zonna eziyinza okugaana olumbe okugenda mu maaso era babeera
balina okukakasa nti, basasudde abaali bamubanja bonna. 2 Bawandiikira ow’Oluggya nga bamutegeeza nti, muzzukulu bw’ati yafa nnaku z’omwezi bwe ziti, olumbe
olwamutta lwali bweruti, yali aweza emyaka bwe giti. Omugenzi yalina amaka egindi, yaleka nnamwandu oba bannamwandu n’abaana, ebyo byonna biteekebwa mu bbaluwa. Omugenzi teyalaama oba yalaama, naye ab’enju bwe tutudde ne tulaba nga olumbe lwe tusaanye tulwabye ku lunaku bweruti, ennaku z’omwezi bweziti.
Awo ow’ennyumba akulemberamu abaana n’ebbaluwa gye bamaze okuwandiika obulungi n’etwalibwa ew’omukulu w’Oluggya. 3 Bw’atuuka ew’omukulu
w’Oluggya ebbaluwa eno agisoma n’akolamu endala nga ebigambo abiggya mw’eyo
gye bamuleetedde n’awandiikira ate Ow’olunyiriri ng’amusaba mu ngeri y’emu. 4 Bw’etuuka ewa Ow’olunyiriri era naye akolamu endala n’awandiikira ow’Omutuba,
ono y’awandiikira omukulu w’Ekika ng’amusaba olumbe lwa muzzukulu we lwanjulibwe mu lukiiko lw’Omutaka ow’Essiga. Bwe wataba kizibu kyonna bw’aba alutadde lugende lwabizibwe mu mpisa y’ensi nga ennaku z’omwezi bwe zitegekeddwa. 5 Okuggyako bwe luba lwa kutuuka ewa Kabaka ow’Essiga yeeteekateeka n’alutuusa eri omukulu ow’akasolya, ono y’atuusa ebbaluwa ewa Kabaka, naye ng’abasinga batera kukoma ku w’Akasolya.
Wabula buli mutendera ebbaluwa eno gy’etwalibwa erina okugenderako ebitebe (ssente) okusinziira ku famire bw’eba eyimiridde.
Awo tuzaako omutendera omulala, bwe luba nga lukomye ku wa Kasolya wabula ky’otolina kwerabira nti ebbaluwa eno bw’eba ewandiikibwa buli abeera awandiika teyeerabira kigambo ekigamba nti, “Ssebo naawe tukuyita obeerewo ku lumbe lwa muzzukulu wo”. Ow’Akasolya bw’abakkiriza awo ekiddako kuba kuteekateeka engeri gye munaayabyamu olumbe. Ebirala birinde mu Katuuso ka wiikendi ejja