OMUSUJJA gw’ensiri gutta Bannayuganda 16 buli lunaku, ekintu ekyeraliikiriza ennyo abali mu kitongole ky’ebyobulamu mu ggwanga.
Okusobola okumalawo okusoomooza kuno, Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyawakati, baatandise kampeyini y’okusomesa abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo ku nteekateeka y’okugemesa Bannayuganda endwadde y’omusujja gw’ensiri.
Kamisona avunaanyizibwa ku kumanyisa n’okusomesa abantu ku ndwadde mu Minisitule y’ebyobulamu Dr. Richard Kabanda yategeezezza nti, gavumenti yafunye eddagala erigenda okweyambisibwa okugema abantu nga ligenda kutandikira ku kugemesa baana mu disitulikiti 105 ezisinga okukosebwa obulwadde buno.
Wiiki ewedde abamasaza, eggombolola, bannampala n’ebiti ebirala okuva mu masaza okuli Mawokota, Gomba, Busujju n’amalala baakung’aanidde ku Ridar Hotel e Seeta- Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe ne basomesebwa kw’ebyo ebinaayitibwamu ng’okugema kutandise nga April 2, 2025.
Minisita w’enkulakulana y’abantu ba Buganda era avunaanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Coltlida Nakate Kikomeko yeebazizza gavumenti olw’okunyweza enkolagana eyateekebwako enjuyi zombi mu 2019, okutumbula ebyobulamu.
Nakate yatuusizza okwebaza olw’enteekateeka y’omusomo guno egenda okubangula abaami okwenyigira mu nteekateeka y’okutumbula eby’obulamu by’abantu.
Omwami w’essaza ly’e Mawokota Kayima Sarah Nannono Kaweesi ku lwa banne yasabye abazadde okutegeka amaka gaabwe bulungi okuziyiza okukwatibwa kw’omusujja gw’ensiri okuli okuggala amayumba nga bukyali ate n’okusulanga mu butimba bw’ensiri.
David Muwonge nga ye mukwanaganya w’ebyobulamu mu Buganda yategeezezza nti ng’Obwakabaka baagala okulaba ng’obulwadde buno bumalibwawo 2030 waanaatuukira.
Yayongeddeko nti emisomo emirala gyakutegekebwa okusomesa abaami mu bitundu eby’enjawulo kuba baatandikira mu bitundu by’e Masaka-Buddu.
Abasomesa okuli Irene Nabakooza, Ismail Kabugu Muteesasira okuva minisitule y’ebyobulamu baategezezza nti omusujja gw’ensiri gwe gusinga okutta Bannayuganda.