Amawulire

Omusajja ow'emyaka 50 afiiridde mu nsiko nga banyumya akaboozi n'owemyeka 40

WABADDEWO akasattiro, omusajja ow'emyaka 50, bw'afiiridde mu nsiko nga banyumya akaboozi n'omukazi ow'emyaka 40

Omusajja ow'emyaka 50 afiiridde mu nsiko nga banyumya akaboozi n'owemyeka 40
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

WABADDEWO akasattiro, omusajja ow'emyaka 50, bw'afiiridde mu nsiko nga banyumya akaboozi n'omukazi ow'emyaka 40.

Bibadde ku kyalo Namulanda B  mu Ggombolola y'e Bukooma mu disitulikiti y'e Luuka, Simon Kalamu 50 gy'agambibwa okufiira mu kifuba ky'omukyala gw'abadde ali naye mu nsiko.

Kitegeezeddwa nti omukazi naye bimusobedde era n'atemya ku batuuze abaliraanye ekifo we babadde wakati mu kutya nti nabo bagenze okutuukawo nga mufu.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, ategeezezza nti omugenzi abadde musajja mufumbo era nga mukyalawe ababadde yakazaala

Tags: