Ab'e St Juliana bayisizza ebivvulu oluvannyuma lw'okuwangula ekikopo

May 07, 2024

Abayizi b’e ssomero lya St Juliana High School bayisizza ebivvulu okwetooloola ekibuga Mukono olw’obuwanguzi bwe baatuuseeko bwe baawangudde ekikopo ky’e mipiira gy’amasomero gonna mu ggwanga egibadde giyindira e Masaka, egyatandika nga 26 April okutuuka mu May nga 5.

Ab'essomero lya St Juliana nga bajaguza okuwangula ekikopo

Joan Nakate
Journalist @Bukedde

Abayizi b’e ssomero lya St Juliana High School bayisizza ebivvulu okwetooloola ekibuga Mukono olw’obuwanguzi bwe baatuuseeko bwe baawangudde ekikopo ky’e mipiira gy’amasomero gonna mu ggwanga egibadde giyindira e Masaka, egyatandika nga 26 April okutuuka mu May nga 5.

Bano okutuuka ku buwanguzi baawangudde essomero lya Amus Senior Secondar School  goolo ssatu ku bwereere.

Beetoolozza ekikopo kye baawangudde mu kibuga Mukono wakati mu mbuutu n’emizira.

Bakomekkererezza ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono gye basisinkanidde abakulembeze ab’enjawulo era nga bano baayaniriziddwa Rashid Kikomeko akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti Mukono asiimye omutindo ogwayoleseddwa essomero lino n’asuubiza okulaba ng’abayambako n’ebyetaagisa okutuuka mu mpaka z’emipiira gy’amasomero aga East Africa ezigenda okubeera mu disitulikiti y’e Bukedea mu mwezi ogwa September.

Ddayirekita w’essomero lino Geoffrey Sserunjogi ategeezezza nga guno bwe gubadde omulundi gwaabwe ogusookedde ddala okwetaba mu mpaka zino, n’asiima abayizi abakoze ekisoboka okuwangula ekikopo, n'asuubiza nti baakuwangula n’ekikopo kya ky’amasomero ekya East Africa.

Amyuka RDC w’e Mukono Mike Ssegawa abasiimye okuzannya omupiira guno mu mazima n’obwerufu awatali kukozesa bachuba nga bwe gutera okubeera mu bitundu ebirala.

Ssentebe w’emipiira gy’amasomero e Mukono Steven Kitooke asiimye amasomero 3 ageetabye mu mpaka zino olw’empisa n’omutindo gwe baayolesezza olw’okumalako empaka zino nga tegalopeddwa kwenyigira mu mbeera yonna naddala ey’okugulirira abazannyi.

Ssabawandiisi w’ekitongole ekitwala amasomero e Mukono Wilberforce Sserugo agambye nti bbo baakola okusunsula okulungi era nga y’ensonga lwaaki amasomero gaabwe tegaabadde na bachuba.

Asabye amasomero amalala okukozesa enkola ya USSSA gye yateekawo okusobola okuzuula abasambi abatuufu wamu n’okweyambisa FUFA Connect okumanya abasambi abaayitako emyaka okwewala okukonya emipiira gy’amasomero.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});