NNAMWANDU w’omugenzi Daniel George Nkuse Jakana ayongedde okuteeka akazito ku b’ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) ng’ayagala kkooti eragire addizibwe ettaka lya bba lye baamutwalako.
Edith Nagujja Jakana, agamba nti ekyapa ky’ettaka okutudde amaka mwe baali babeera ne bba erisangibwa e Kawempe, yali yakissaako dda envumbo (Caveat) kyokka kyamwewuunyisa gye buvuddeko ate okukizuula nti mutabani we Daniel Lule Ssenkubuge, yali yeekobaanye n’aba KCCA n’abaguzaawo ne bafunawo n’ekyapa.
Daniel George Nkuse eyali amanyiddwa ennyo nga Jakana
Wabula KCCA egamba nti ekiseera weyagulira ettaka lino, tewaaliwo alikaayanira yenna nabo kwekulisasula ssente eziri eyo mu kawumbi. Ettaka eryogerwako liri kitundu ku eryo erya yiika ebbiri okutudde amaka g’omugenzi Jakana, erisangibwa ku poloti namba LRV 4552,Folio 13 Kyadondo/Block namba 203,Plot 11780-Kazo.
Wabula Nnamwandu ye akalambidde ng’agamba nti ku myaka gy’alina egisoba mu 90, yandyagadde Kominsona avunaanyizibwa ku nsonga z’okufulumya ebyapa mu Minisitule y’eby’ettaka aveeyo annyonnyole kkooti engeri gye yafulumyamu ekyapa KCCA kwe yasinziira okusasula ate nga envumbo ku ttaka lino, yali teggyibwangako.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu ekola ku nsonga z’ettaka, Agnes Alumu wano weyasinzidde n’alagira Kominsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa alabikeko mu kkooti ennaku z’omwezi nga June, 01, 2023, annyonnyole kwe yasinziira okufulumya ekyapa ku ttaka eryali lissibwako dda envumbo.
Nnamwandu era yasambazze ebyogerwa KCCA ne mutabani we yali yamuwa ebbaluwa ng’ayita mu kitongole ekitambuza amabaluwa ekya (Posta Office) nga bamusaba okweyanjula ewa Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa, okunnyonnyola ensonga lwaki envumbo gye yali atadde ku ttaka eryogerwako yali tesaanidde kuggyibwako muntu mulala yenna.
Amaka g'omugenzi Ying Daniel George Nkuse Jakana agasangibwa e Kawempe mu Zooni ya Kazo Angola
Ayongerako nti kimwewuunyisa okulaba ng’envumbo ekyaliko kyokka nga KCCA ne Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa, yagenda mu maaso n’okufulumya ekyapa ekirala ku ttaka lye.
Bino webiggyidde ng’abakulu b’Ekika ky’Empeewo babadde baakaggya ekifundikwa ku musika wa Jakana, era ng’entabwe yava ku butakkaanya bw’alina ne nnyina ku nsonga ezekuusa ku ttaka ne ssente.
Nnamwandu alumiriza mutabani we era abadde omusika wa bb anti yakozesa olukujjukujju n’asangula erinnya lye ku mpapula ezimulaga ng’omu ku ba abalabirira ebintu by’omugenzi,(bba Daniel George Nkuse Jakana) kyokka n’atakoma okwo, ettaka ly’awaka okutudde amaka ge n’aliguza Abazungu mu ngeri etali nambulukufu.
Ono era alumiriza mutabani we nti yamusaayira emmere ye gye yali yalima ng’ayambibwako abantu b’abeera nabo ewaka, ate emiti gyonna egyali ewaka n’agisalamu embaawo- nga kati emmere gy’alya alina kusooka kukwata mu nsawo okufuna eky’okulya.
Daniel Lule Jakana agugulana ne nnyina
Embeteza endala ziri ku bukadde bwa ssente 40, Nnamwandu Jakana z’agamba nti yaziwa mutabaniwe Daniel Ssenkubuge Jakana amutandikire omusingi gw’ennyumba e Ntinda mu Divisoni y’e Nakawa, kyokka oluvannyuma n’amwefuulira ennyumba n’azeddiza nga ziwedde.
Ayongerako ensonga ya ssente obukadde 70, z’alumiriza nti mutabani we bwe yali ng’akyali Omusika wa bba, yazijja ku akawunti ye mu bbanka mu ngeri ey’obukuluppya kyokka bwe yagezaako okumunenya, n’amuggulako olutalo, okuva ku olwo n’atandika okweraliikirira olw’obulamu bwe.
Daniel Lule Ssenkubuge, ekifundikwa kya Kitaawe-omugenzi Daniel George Nkuse Jakana, n’ekya Jjajjaawe omugenzi Yokaana Ssenkubugem byali byamuweebwa mu mwaka gwa 1985, kyokka oluvannyuma lw’enkaayana zino okubalukawo wakati we ne nnyina, Obusika bwaweebwa mugandawe abeera mu Amerika ayitibwa Steven Kagiri Jakana